Abatuuze b’omu Kira basabiddwa ku nguudo ezinaakendeeza jjaamu
Jul 02, 2024
ABATUUZE abali ku nguudo okuli Kungu - Bivanjo Road, olugatta Najjeera -Buwaate ku Kyanja, Mbogo Road, oluva e Kiwatule okutuuka e Kira ku nkulungo , n’olwa Cyprian Kizito Road oluva e Kira ku nkulungo okutuuka e Kiwologoma, balina ebibuuzo bingi eri bayinginiya, aba Kira Development Forum, wamu n’abakulembeze ba Kira abali mu nteekateeka y’okukola enguudo World Bank ze yabawolerako ssente zikolebwe okusobola okukendeeza ku Jjaamu mu Kampala.

NewVision Reporter
@NewVision
ABATUUZE abali ku nguudo okuli Kungu - Bivanjo Road, olugatta Najjeera -Buwaate ku Kyanja, Mbogo Road, oluva e Kiwatule okutuuka e Kira ku nkulungo , n’olwa Cyprian Kizito Road oluva e Kira ku nkulungo okutuuka e Kiwologoma, balina ebibuuzo bingi eri bayinginiya, aba Kira Development Forum, wamu n’abakulembeze ba Kira abali mu nteekateeka y’okukola enguudo World Bank ze yabawolerako ssente zikolebwe okusobola okukendeeza ku Jjaamu mu Kampala.
Abaweebwa omulimu baludde nga basaba abatuuze bakkirize mu buwandiika bayiseewo oluguudo, engeri oluguudo luno gyeruri olufunda, ate ng’abamu baazimba kumpi nnyo n’ekkubo nga balina ffuuti ze babasaba basobole okuluyisaawo.
Edisa Ndikibuuliraani ow’e Mulawa agamba nti tagenda kubakkiriza kugaziya luguudo nga tebamuliyiridde.
James Waluswata nga mutuuze w’e Mulawa naye akombye kwerima ate Isaac Kasujja ow’e Kiwologoma agamba nti ali kumpi n’ekkubo ate n’emabega talinaayo kifo waakweyongera, bagenda kumukolera ki, wabula ye Okello abagambye bongere okunnyonnyola abantu basseeko omukono nga bakitegedde bulungi kubanga kituufu enguudo zetaagibwa.
Yinginiya wa Kira James Joloba agamba nti gavumenti ng’eyambibwako World Bank yalangirira okubakolera enguudo 3 eziri mu mbeera embi nga ze zigenda okuyambako okukendeeza ku jjaamu mu Kampala, nga polojekiti eno bagiyita ‘Interconnectivity’ nga bagenda kukola enguudo zonna mu bbendobendo lya Kampala , ze baanokoddeyo ezigenda okutaasa ku Jjaamu.
Ategeezezza nti mu Kira ku ffeezi esooka bagenda kukola Kungu - Bivanjo Road, olugatta Najjeera Buwaate ku Kyanja nga luno bagenda kukolako kiromita 2.3.
Mbogo road, oluva e Kiwatule okutuuka e Kira ku nkulungo , n’olwa Cyprian Kizito Road oluva e Kira ku nkulungo okutuuka e Kiwologoma, nga zino zombi awamu ziriko kiromita 9.
Town clerk wa Kira munisipaali Benon Yiga yagambye nti gavumenti yafulumya obuwumbi 170 okukola ku nguudo ez’enjawulo ng’omulimu guno gwakumala emyaka 4 era gutandika mwezi guno.
Agambye nti mu ffeezi esooka bagenda kukola ku nguudo ezo 3 ze baafulumizza era baabadde baakutandika ggulo nga July 1 nga lwakumalirizibwa mu mwaka gumu ng’enguudo ezo zigenda kubaako emyala emibikke, omwagaanya omuntu ow’ebigere waayita, amataaala, ne kyebayise ‘Island’ eyawula wakati w’ekkubo ng’emmotoka tesobola kusala kudda mu layini ndala.
Ayongeddeko nti awanaabeera awagazi, oluguudo lwakuyisa emmotoka 2 ezidda ku ludda olumu kyayise era zigenda gataasa ku jjaamu , nga basuubira nti singa zinaabeera ziwedde kijja kuba kitaasizza kinene nnyo.
Florence Kiiza ku Kira Munisipaali ategeezezza nti polojekiti eyo teriiiko kuliyirira era n’abantu 70 ku buli 100 be baakassaako emikono nti bakkirizza, 10 ku buli 100 ba landiroodi ate abakyabazibuwalidde okufuna basobole obubawa omwagaanya, abasigadde mwe muli abalowooza nti banaabaliyirira ekitali mu nteekateeka wadde, ate abalala bakkiriza tebakkiriza.
Yinginiya omu ku baweebwa omulimu okulaba ng’enguudo zino zikolebwa, Sam Mwesigwa yagambye nti polojekiti eno erina okutambula mu bwangu ddala era batambula balaba abantu abalina ensonga ez’enjawulo balabe engeri gye bayinza okubayambamu.
Minisita w’ebyenguudo n’entabula Gen Edward Katumba Wamala yasabye abatuuze abaliraanye enguudo ezigenda okukolebwa mu nteekateeka eno eya Greater Kampala Metropolitan okuwaayo akatundu ku ttaka lyabwe omulimu gw’okubakolera enguudo gusobole okutandika mu bwangu.
Meeya wa Kira Julius Mutebi Nsubuga yagambye nti omugotteko gw’ebidduka ogubadde gufuuse ensonga mu Kira munisipaali, enguudo ezo bwezinaakolebwa, jjaamu waakufuuka olufumo kubanga zaamugaso nnyo ziyiwa ku nguudo endala okuviira ddala e Kampala okutuuka e Mukono n’agattako nti kigenda kwongera ku nkulaakulana ya Kira
No Comment