Tamale Mirundi muyi ; embeera ye eserebye mu nnaku 3!
Jul 17, 2024
Abaffamire baamututte ku malwaliro amanene 2 (amannya gasirikiddwa) ng’erimu lisangibwa ku lw’e Ntebe ate eddala liri mu Kampala.

NewVision Reporter
@NewVision
FFAMIRE ya munnamawulire era omuwabuzi wa Pulezidenti omukulu, Joseph Tamale Mirundi 60, eri mu ssaala ow’embeera y’obulamu bwe okusereba n’okusajjuka mu nnaku nga ssatu eziyise nga kati muyi nnyo!!
Tamale Mirundi amanyiddwa nnyo mu kwogera nga taluma mu kigambo naddala okukubawo ebigambo ebikaawu ku banene ng’asinziira ku leediyo, TV n’emikutu gya Social Media, obulwadde bwamutandika wiiki nga ssatu eziyise kyokka ne yeegumyagumya ng’atambula nabwo ku TV ne leediyo okutuusa wiiki ewedde obulwade bwe bwamukubye ku ndiri.
Tamale Mirundi Lwe Yaweebwa Ekitanda Gye Buvuddeko.
Abaffamire baamututte ku malwaliro amanene 2 (amannya gasirikiddwa) ng’erimu lisangibwa ku lw’e Ntebe ate eddala liri mu Kampala.
Yasooka mu ddwaaliro ly’oku lwe Ntebe ne bamukolako kyokka abasawo ne bawa famire amagezi bamwongereyo mu ddwaaliro eddeneko babeeko ne ‘tests’ eziba zikolebwa naddala ku bitundu eby’omunda mu lubuto n’ebirala nga ekibumba, ensigo
n’amawuggwe.
Mu kiseera kino Mirundi baamuzzizza mu maka ge amakulu agasangibwa e Zzana mu zzooni ya Kirimanyaga nga kigambibwa nti abasawo be we bamusanga okumuwa obujjanjabi.
Ensonda zaategeezezza nti abaffamire abamu baabadde baagala Mirundi bamuzzeeyo e Nairobi gye yajjanjabibwako mu 2019 kyokka kigambibwa nti yagaanyi eby’okumutwala ng’agamba nti bamuleke awaka era kino
ne mukyala we ow’e Zzana kigambibwa yawagidde bba.
“Famire erimu okusika omuguwa, ab’amaka ge Kyengera balowooza nti ab’e Zzana beefuze omulwadde tebamukkiriza kutuukibwako,” omu ku baffamire ya Mirundi eyasabye amannya ge okusirikirwa bwe yabbiddeko Bukedde.
Bukedde yakiteddeko nti abasawo nabo basobeddwa kubanga erimu ku ddagala lye balina okumukuba mbu bwe lyegatta n’omusaayi gwe likola butwa, ekintu kye balumiriza nti kyandiba ku kiva ku by’atera okunywa abasawo bye baludde nga baamugaana kyokka ng’abatunula mu mutwe.
Kigambibwa nti Tamale bwe yali aggyibwa mu kifo eky’owebyamawulire wa Pulezidenti kye yamalamu emyaka 13, abasawo baawa Pulezidenti lipoota nti Tamale atwalibwe mu basawo bamusse mu byuma bimunuunemu ku bitamiiza ebiri mu musaayi gwe, n’oluvannyuma abasawo abakugu boogereko naye mu ngeri ey’okubudaabudibwa bamukkirizise ave ku bitamiiza.
Egimu ku mikwano gya Tamale gyategeezezza nti balina okutya kubanga bagezezzaako okumutuukako ne balemesebwa era essimu ze tazikwata ng’abamu baayongedde okuggwaamu amaanyi bwe baakubiddeko mutabani we Tamale Mirundu Junior nga muyongobevu ebitagambika ng’awoza kimu, “Ddaddi mulwadde nnyo.”
Ebadde nkola ya Mirundi nga buli lw’alwala akugira abantu okumutuukako omuli n’abooluganda. Era eky’okugaana abamu, basuubira nti yennyini Tamale ye yabagaanye okumulaba.
“Wadde nga batugamba nti kkojja ali mu maka ge Zzana, naye tebatukkiriza kumulabako era tetukakasa nti ali bulungi,” omu ku booluganda lwa Mirundi bwe yagambye.
N’agattako nti yandyagadde omuntu waabwe atwalibwe e Kenya kuba gye baamujjanjabira n’atereera mu December wa 2019 embeera ye bwe yali etabuse. Kyokka mukulu wa Mirundi ayitibwa John Ssembuya Ssali yagambye nti yamukyaliddeko n’asanga nga wadde mugonvu naye si muyi nga bwe byogerwa.
No Comment