Omwana eyabuzibwawo mu Kisenyi e Kampala akwasizza abalala 3!
Jul 18, 2024
EBY'OMWANA ow'emyezi 8 eyabuzibwawo mu Kisenyi byongedde okulanda

NewVision Reporter
@NewVision
EBY'OMWANA ow'emyezi 8 eyabuzibwawo mu Kisenyi byongedde okulanda kkooti bw’ekoze ennongoosereza mu mpaaba yaayo ne bongera okukwata abantu abalala basatu abagambibwa okuba nga nabo beenyigira mu kubuzibwawo kw'omwana mu bikujjuko by’omwaka 2022 nga guggwaako.
Kati giweze emyaka ebiri ng’omwana Shivan Namubiru ow’emyezi 8 abuziddwawo abantu abatannamanyibwa n'ekigendererwa eky’okumutta oba okumutuusaako obulabe.
Nakaweesi (mu Bimyufu) Ne Banne Bwe Bavunaanwa.
Omulamuzi wa kkooti ku Buganda Road, Ronald Kayizzi yalagira oludda oluwaabi okukola ennongooserezza mu mpaaba yaalwo ng’eyasooka yali erambika okubbibwa kw’omwana wabula nga kati ebbanga lyetoolodde kasookedde abuzibwawo.
Josephine Nalumansi 22, omutuuze w'e Namungona mu Rubaga, Maureen Akyiru 32, abeera mu Kisenyi mu disitulikiti y’e Kampala ne Jenipher Kideny 25, omutuuze w’e Mulago mu diviizoni y’e Kawempe be bagattiddwa ku musango nga kati baweze abantu 8 abagambibwa okwenyigira mu kikolwa ky’okubuzaawo omwana.
Maama w’omwana Rose Nakalyango agamba nti omu ku baliraanwa be ayitibwa Reagan yabasaba okusitula mu mwana nga bali ku kabaala kaabwe mu Kisenyi wabula oluvannyuma bwe yatuuka okumusaba omwana n’amugamba nti tamanyi gy’ali.
Nalumansi Mu (mu Biddugavu) Akyiru (mu Kiteteeyi Ekirimu Obumuli Bwa Kyenvu) Ne Kideny Mu Kaguli Ka Kkooti.
Kigambibwa nga December 31,2022 nti bano baakukusa omwana n'ekigenderwa eky’okumusaddaaka oba okumutuusaako obulabe wabula omusango bagwegaanyi.
Ku balala abavunaanibwa ku musango guno kuliko Bashir Kasozi 20, Jackline Omuhoza 32, Reagan Wavamunno 25, Bashir Kasozi 20, Fatuma Ayo 22 ne Joan Nakaweesi 18 nga bano nabo omusango baagwegaana.
Omuwaabi wa gavumenti Ivan Kyazze yategeezezza kkooti nga okunoonyereza ku musango guno bwe kukyagenda mu maaso n'asaba baweebweyo akadde mu kunoonyereza. Omulamuzi omusango agwongezzaayo okutuusa nga July 22, 2024 okutandika okuwulirwa.
No Comment