Katikkiro Mayiga akakasizza enteekateeka y'amatikkira ga Kabaka

KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga agambye nti enteekateeka ebaddewo ey'okujaguza amatikkira ga Kabaka yakugenda mu maaso wadde Kabaka Mutebi II akomyewo mu ggwanga.Mayiga ategeezezza Bannamawulire enkya ya Leero e Bulange-Mmengo nti Okujaguza amatikkira ga Kabaka ag'omulundi ogwa 31 kwakubeera ku Lutikko e Namirembe nga bwekyategekebwa okubeerawo nga July 31,2024.

Katikkiro Mayiga ng'ayogera
By Dickson Kulumba
Journalists @New Vision

KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga agambye nti enteekateeka ebaddewo ey'okujaguza amatikkira ga Kabaka yakugenda mu maaso wadde Kabaka Mutebi II akomyewo mu ggwanga.

Mayiga ategeezezza Bannamawulire enkya ya Leero e Bulange-Mmengo nti Okujaguza amatikkira ga Kabaka ag'omulundi ogwa 31 kwakubeera ku Lutikko e Namirembe nga bwekyategekebwa okubeerawo nga July 31,2024.

Wabaddewo endowooza nti okukomawo kwa Kabaka, kwandiviirako okujjulula emikolo okuva e Namirembe okudda mu Lubiri awagazi kyokka kino Mayiga agambye si bwekigenda okubeera kuba era Kabaka ye muyima w'ekanisa ye Namirembe.

“ Twalangiridde nti emikolo gigenda kubeera mu Lutikko e Namirembe era Omulabirizi w’e Namirembe yafulumizza n’enteekateeka. Bamaze okwetegeka, essaala zitegekeddwa, abayimbi betegese kati toyinza kugamba nti mu nnaku entono bweziti nti tujjuludde, tugenze mu lubiri kubanga Kabaka akomyewo.

Kabaka ye muyima wa lutikko y’e Namirembe oba Dickson akimanyi era ekanisa eyo yazimbibwa Ssekabaka Duadi Chwa II era Kabaka wa Buganda ye muyima w’ekanisa y’e Namirembe n’olwekyo tetujja kuva mu kifo ky’ekanisa ekyalangirirwa edda wadde Kabaka waali,” Katikkiro Mayiga bwalambuludde ku kifo awagenda okutegekebwa omukolo gw’amatikkira ga Kabaka ag’omulundi ogwa 31.

Katikkiro Mayiga era ayongedde n'akinoganya nti okwetaba kwa Kabaka ku mukolo gw'amatikkira g'omulundi guno, kinasinzira ku kuwabula kw'abasawo be.

Katikkiro Mayiga ng'ali n'abakungu be

Katikkiro Mayiga ng'ali n'abakungu be

Agambye nti abasawo bwebanasalawo ajje yetabe ku mukolo ajja kugubeerako, bwebanagamba nti tajja era si wa kujja kyokka gwakugenda mu maaso.

“N’olwekyo ffe tuli ku ky’abasawo, bwebagamba nti adde ku mirimu, nkakasa ne bannange bano bonna kyebaagala nammwe kyemwagala,” Mayiga bwalambuludde

 Kabaka Mutebi akomyewo ku ssaawa 6:40 mu kiro ekikeseza olwa Leero(Mmande July 22,2024) ng'ava e Namibia gyamaze emyezi esatu.

Kyokka abadde anatera okukomawo, gavumenti y'e Namirembe yayisa ekiwandiiko wakati wa wiiki ewedde nga kiraga nga bwebatayongezaawo visa ye okusigala ng'ali mu ggwanga eryo.

Mayiga bwabuuziddwa oba ekiwandiiko kino kyekiviiriddeko Kabaka okukomawo e Uganda, abuulidde Bannamawulire nti ekiseera kye eky'okukomawo kibadde kituuse nga baakola enteekateeka nti wakukomawo nga July 21,2024.

“Ebya Visa abali ku mutimbagano bebayagala okubisavuwaza.Kabaka abadde wakudda nga July 21,2024 yeyali enteekateeka y’abasawo era y’ebadde enteekateeka yaffe….Singa twali twagadde nti ayongezeeyo ennaku sirowooza nti bandimuganye kubanga Kabaka munene eky’enkanidde awo,” Mayiga bwagaseeko.

Katikkiro Mayiga era yebazizza gavumenti ya Uganda olw'enkolagana ennungi ewereddwa Kabaka ng'ali Namibia kyokka n'asinzira wano neyetondera gavumenti ye Namibia olw'abantu baayise bannakigwanyizi ababadde bateeka gavumenti yaayo ku nninga nga balaga nga abafaayo ennyo ku Kabaka ng'ate bonoona linnya lya ggwanga.

 E Namibia, Kabaka abaddeyo n'abayambi be era bano Kamalabyonna abeebazizza nnyo olw'okugumira obunkenke n'okusomoozebwa kwonna nebalabirira Kabaka.

Mu lukungana lwa Bannamawulire luno Katikkiro abaddemu ne Baminisita okuli Ssabawolereza wa Buganda Christopher Bwanika, Minisita w'amawulire Israel Kazibwe, Noah Kiyimba nga y'avunanyizibwa ku Kabineeti n'olukiiko, Joseph Kawuki owa gavumenti ez'ebitundu n'okulambula kwa Kabaka saako Cotlida Nakate Kikomeko avunanyizibwa ku nkulakulana y'abantu ne ofiisi ya Nnabagereka.

Kabaka Mutebi II yasimbudde okuva ku kisaawe e Windhoek e Namibia ku ssaawa munaana ez'emisana ga Ssande July 21,2024. 

Yatambulidde mu Ethiopian Airlines ng'okuva e Namibia, yasoose kwekonaako Addis-baba mu Ethiopia, awo naatonya e Uganda ku kisaawe e Ntebe ku ssaawa mukaaga n'eddakiika 40 ez'ekiro ekyakesezza olwa Mmande July 22,2024.

Kabaka abadde yava mu Uganda nga March 21,2024 n'agenda e Bugirimaani okulaba abasawo be abakungu. Eno gyeyava okusinzira ku minisitule y'ensonga ez'omunda e Namibia yalaga nga Kabaka Mutebi II bweyayingira eggwanga eryo nga April 14,2024.

Amawulire ga Kabaka Mutebi II gaategerekeka e Buganda nga May 12,2024 oluvanyuma lw'ebifananyi bye okusasaana ku mutimbagano ng'ali ne Mugandawe era Omubaka wa Uganda e Namibia, Joseph Ndawula