OMUSUUBUZI w'oku Kaleerwe agudde mu bazigu ne bamutta baamusaze ensingo n'olubuto ebitundu by'omunda ne bakuliita nabyo.
Madiina Nalunkuma Maama W'omugenzi n'abamu ku bamulekwa
George Kiwanuka Ssemakula 26 abadde amanyikiddwa nga kabakko, omutuuze w'e Masooli mu Town Council y'e Kasangati mu disitulikiti y'e Wakiso ng'abadde musuubuzi wa nnyaanya mu katale ka Namisango ku Kaleerwe ye yagudde mu bazigu ne bamufumita ekiso ku Bulago ne mu lubuto ne bamuleka nga mufu ne badduka badduka.
Madiina Nalunkuma, maama w'omugenzi yagambye nti mutabani we oluusi abadde asula mu katale okusobola okulinda mmotoka z'ennyaanya kyokka ku luno yazzeeyo awaka.
Mu ekyakeesezza leero ku Lwomukaaga yakedde nnyo okugenda ku Kaleerwe okusuubula kyokka wano abazigu we baamutaayirizza ne bamutemula nga yaakava awaka.
Zaituni Nassali, mukyala W'omugenzi Nga Bamukwatiridde
Zaituni Nassali, 26, nnamwandu ategeezezza nti bba yagenze ku ssaawa 11:00 ez'okumakya era baamukimye waka okugenda okwetegereza omulambo kuba abazigu omugenzi baamusazeesaze nnyo. Nassali yagambye nti bba abadde talina nkaayana yonna gy'amanyi era tamanyi nsonga lwaki baamusse nga ekisolo.
Abdallah Sserunkuuma Ssekannyo kkansala wa Mulago III A avumiridde ekikolwa kino n'asaba ebitongole ebikuumaddembe okusitukiramu okulaba nga babirwanyisa.
Omugenzi Ssemakula.
Nagibu Kadala, omu ku mikwano gy'omugenzi y'omu ku baatuuse mu kifo we baatemulidde yagambye nti abazigu ekigendererwa kyabwe kyabadde kyakutemula Kiwanuka kubanga ssente n'essimu ye baabimulekedde ne bakuuliita n'ebitundu bye eby'omunda.
Patrick Onyango, omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano ategeezezza nti ensonga eno baginoonyerezaako okuzuula ekituufu ekyavuddeko ettemu lino.
Ebbaluwa Kwe Baabaweeredde Omulambo E Mulago