OMUSAJJA agambibwa okuba nti aludde ng'atigomya abasuubuzi n'abatuuze b'e Kajjansi mu kubabbirako amasimu ku pikipiki ,akwatiddwa.
Yasin Kizito amanyiddwa nga Mr. Kampala, abadde y'akava mu kkomera e Kigo, gy'amaze emyaka ebiri olw'emisango gy'egimu egy'obubbi, gwe bazzeemu okukwata ku by'okubba amasimu.
Kidiridde omukyala Pearl Ayebale, ababbi babiri nga batambulira ku pikipiki, okumunyagako essimu bwe yabadde agenda okukola ku Lwokubiri era n'aggulawo omusango ku poliisi ya Akright .
Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Patrick Onyango, ategeezezza nti , basobodde okumulondoola era ne bakizuula nga Kizito y'omu ku abo, nga n'abalala, babayigga.
Ono akwatiddwa ne pikipiki esuubirwa okuba nga gy'abadde yeyambisa mu bunyazi buno.