Zari asibisizza omusika wa taata wa Ssemwanga
Jul 29, 2024
OLUTALO wakati wa Zari n’aba ffamire y’eyali bba, omugenzi Ivan Ssemwanga lusajjuse, bw’asibye mulamu we.
By Ignatius Kamya
Journalist @New Vision
OLUTALO wakati wa Zari n’aba ffamire y’eyali bba, omugenzi Ivan Ssemwanga lusajjuse, bw’asibye mulamu we.
George Ssemwanga, nga ye yasikira taata wa Ivan Ssemwanga, yakwatiddwa bwe yabadde ku Serena Hotel mu Kampala n’atwalibwa ku Poliisi ya Kira Road n’aggalirwa.
Zari Eyasibye Omusika W'eyaliko Ssezaala We.
Amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire yategeezezza Bukedde nti George Ssemwanga baamugguddeko fayiro omuli emisango gy’okukozesa obubi kkompyuta n’okusiga obukyayi.
Okukwatibwa kwa George kuddiridde ebigambo ebikaawu, bye yatadde ku mikutu egy’enjawulo ng’alumba Zari gwe yayogeddeko ng’omubbi, omufere era eyali akola mu ssabo e South Africa gye yaggyiramu embuto z’abawala abayitirivu.
George alumiriza Zari okwagala okwezza emmaali ya muganda waabwe omuli n’ekizimbe ggaggadde ku Sir Apollo ekibalirirwamu obuwumbi nga 5.
George Ssemwanga, Eyakwatiddwa.
George alumiriza nti omugenzi Ivan Ssemwanga we yafiira mu 2017, ng’ababiri bano baayawukana dda era nga Zari ali mu bufumbo ew’omuyimbi Diamond Platinumz enzaalwa ya Tanzania.
Ekyasiikudde olutalo luno, ye Zari okwagala okuggyako obwaddayirekita abamu ku baganda b’omugenzi ku mmaali ng’agamba nti abaana bakuze ng’ebintu byetaaga okudda mu mannya gaabwe.
Kalina Egambibwa Okuvaako Enkaayana.
Zari alumiriza nti bba Ivan Ssemwanga yali akolerera baana be ssi bahhanda, kyokka abooluganda lwa Ssemwanga bakiwakanya era nga bagamba baagala okufuna emigabo gya bitundu 50 ku buli 100 ku mmaali ya muganda waabwe. Kigambibwa Zari ye yaloopye George n’akwatibwa.
No Comment