ABADDE Omusumba w’Obusumba bw’e Kireka ku kkanisa ya St Stephens Kireka, Reverend Abel Sserwanja Merewooma awaddeyo ofiisi eri Rev. Esawu Bbosa Kimmanje eyamuddidde mu bigere n'amulabula ku Bakristaayo ababbi b'ettaka era abatambuza ebigambo eby'okukyayisa omwawule abeera abalemesezza okwezza ebintu by'ekkanisa.
Mu lipooti Merewooma gye yakwasizza Rev. Bbosa wakati mu lukiiko olukulu olw'ekkanisa, yanokoddeyo ebintu ebikulu ebirina okussibwako eriiso ejjogi omuli n'abamu ku bakristaayo be yasuuza eby’ekkanisa nga baatandise dda okwejaga babyezze olw’okuba agenze.

Rev. Merewooma Ng'alaga Rev. Kimmanje Pulojekiti Y'ekizimbe Gy'alese Ng'evudde Ku Musingi 2
Yayanjuliddemu n'ebintu ebikoleddwa mu kisanja kye omuli okugaziya n'okuddaabiriza ekkanisa, okuteekawo okusaba okwa December 31, buli mwaka, okuzimba Sunday School, okununula ettaka ly'ekkanisa, okuzimba bbugwe w'ekkanisa n'okugiteekako ggeeti, ne pulojekiti y'ekizimbe ky'ebyobusuubuzi ebadde yaakava ku musingi ssaako okusiguukula omusamize eyali yasimba amakanda ku ttaka ly'ekkanisa.
Rev. Kimmanje yeebazizza Merewooma olw'emirimu gy'akulembedde Abakristaayo ne bakyusa Kireka n'asuubiza nti naye w'agenda okutandikira ng'atambulira wamu n'olukiiko lw'ekkanisa.

Rev Merewooma Ng'alaga Rev. Kimmanje Pulojekiti Y'ekizimbe Gy'alese Ng'evudde Ku Musingi
Rev. Merewooma yatumiddwa mu Busumba bw’e Kiteegombwa mu Bussaabadinkoni bw'e Gayaza gy’agenda okuva nga August 1, 2024 ate abadde Omusumba w’e Namugongo era abadde ‘Principle’ w’ettendekero ly’Ababuulizi n'Abaawule, Rev. Dr. Esawo Bbosa Kimmanje n'atumibwa e Kireka.qq23