Okusaba kw'oludda oluwaabi kuleeteddwa Jonathan Muwaganya ku lw'oludda oluwaabi ng'agamba amaloboozi gano gaakwatibwa Wangadya n'olwekyo yemujulizi omutuufu okuwaayo amaloboozi abuliire kkooti banannyini maloboozi ago.
Wabula Muwaganya awakanyiziddwa bannamteeka ba babawabirwa NGA bagamba Wangadya talina bukugu mubyamaloobozi n'obutambi.
Olwaleero kkooti lwebadde esuubira okumalayo obujulizi bwa Wangadya wabula tekisobose bannanateeka babaka bwebasabye baweebweyo obudde okwetegereza amaloboozi n'obutambi g'oludda oluwaabi.
Wiiki ewedde Wangadya yatandika okuwa obujulizi bwe n'alumiririza ababaka Cissy Namujju, Yusuf Mutembuli ne Paul Akamba okumusaba ebitundu 20 ku 100 Ku bajeti gyeyali ayagala eyisibwe okuddukanya emirimu gya kakiiko.
Akakiiko kaali kaleese bajeti ya buwumbi 58 okuva ku buwumbi 19 zebaali baweebwa Wangadya zeyategeeza akakiiko Ka Palamenti akamateeka ne bajeti nti tezikyalina kyezibayanba olwemirimu emingi akakiiko ke gyekaali kalina ngate tebakyalina bavujjirizi.
Bweyatuuka mu kakiiko Wangadya yagamba kkooti nti byatandika mu 2023 bweyali agenze mu kakiiko omubaka Fox Odoi n'amutegeeza nga bweyali asobola okumuyamba bayise bajeti ye. Odoi yamutwala mu ofiisi yomubaka Yusuf Mutembuli gyeyamuleka mu kafubo gyebatakkiriza muntu mulala yenna okugyako Wangadya ne Mutembuli.
Mutembuli yamugamba nti okumuyisiza bajeti balina okumuwa ebitundu 5 ku 100, Yayongerako nti yamugamba byebogeddeko abuulireko akulira ebya ssente owakakiiko Kano wabula bweyabimugamba ,yamutegeeza nti wakiri alekulira naye nga takikoze.
Oluvanyuma, Wagandya yagamba nti Mutembuli yamutegeeza nti abakulira ebitongole bya gavumenti byonna bwebatyo bwebakola okubayisiza bajeti zaabwe.
Wangadya yalaba bajeti eremye n'agenda ewa President Museveni n'amusaba alekulire kubanga takyasobola kukola nga bweyali asuubirwa olw'obutaba na ssente.
Yamubuulira byonna ebyaliwo wabula president yanyiiga nnyo n'amusuubiza okubakwata era babonerezebwe. Yamulagira obutalekulira.
Oluvanyuma yamukwasa Maj Betty Agaba gwaba abuulira byonna ebigenda maaso ku nsonga eyo, era mu May 2024 Mutembuli yamukubira ng'amuyita basisinkane ku bya bajeti. Wangadya yabuulira omuntu gwebamukwasa era najja n'akuuma akakwata amaloboozi n'amuyigiria bwekakola ng'akagenda okugenda nako akwate amaloboozi gaabwe.
Yasisinkana Mutembuli ne Akamba ku hotel africana oluvanyuma ne begattibwako Namujju eyategeeza nga bwebalina okubawa 20% kubanga akalulu katuuse era beetaga ssente. Wangadya yakkiriza okuwaayo 20% ne bamulabula okuzibawa amangu ddala nga bajeti eyise.
Babategeeza nga ssente ezo bwebagenda okuwaayo n'abamu kubakulu mu minisiture yebyensimbi.
Ababaka Cissy Namujju, Yusuf Mutembuli ne Paul Akamba bavunaanibwa okusaba ebitundu 20 ku 100 Ku bajeti yakakiiko keddembe lyobuntu .
Okuwulira obujulizi bwa Wangadya kuddamu wiki ejja nga August 14,2024.