Aba URA abaafiiriza gavumenti omusolo gwa bukadde obusoba mu 100 bakaligiddwa!

Stanley Mubiru nga yali akola gwa "agenti" n'ekitongole ekiwooza omusolo ekya URA yasibiddwa wamu ne Dian Nakawuka omutuuze w'e Luwafu Makindye mu Kampala.

Aba URA abaafiiriza gavumenti omusolo gwa bukadde obusoba mu 100 bakaligiddwa!
By Margaret Zalwango
Journalists @New Vision
#URA #Musolo #Bukedde #Gavumenti #Kufiiriza

ABAKOZI ba URA abaafiiriza gavumenti omusolo gwa bukadde 161 bwe baayisaawo emigugu emikyamu bakaligiddwa.

Stanley Mubiru nga yali akola gwa "agenti" n'ekitongole ekiwooza omusolo ekya URA yasibiddwa wamu ne Dian Nakawuka omutuuze w'e Luwafu Makindye mu Kampala.

Bano baabadde mu kkooti ewozesa abalyake n'abakenuzi e Wandegeya mu maaso g'omulamuzi Abert Asiimwe nga bavunaanibwa okuviirako okuwaayo embalirira y'omusolo enkyamu ssaako okuganyulwa mu kikolwa kyabwe eky'obumenyi bwa mateeka. Emisango bonna baagikkirizza.

Nakawuka Ne Mubiru Mu Kkooti.

Nakawuka Ne Mubiru Mu Kkooti.

Mubiru emisango yagikkirizza n'asaba kkooti emuwe ekibonerezo ekisaamusaamu kubanga mulwadde nti era embeera y'ekkomera tejja kumukkiriza kumira bulungi ddagala lye

Mubiru yayongeddeko nti akoledde ekitongole kino emyaka 18 nga tazzangako musango ng'ate mu kiseera kino ne ku mulimu baamugoba ng'ate alina ffamire n'abaana ab'okulabirira.

Nakawuka naye omusango yagukkiriza era n'ategeeza nga bw'alina ekirwadde ekimwetaagisa okugenda e Mulago buli mwezi okukeberebwa.

Yayongeddeko nti yakkiriza ebintu okuyitawo ng'alowooza byali bikakasiddwa Mubiru mu makubo amatuufu. Era yasabye aweebwe ekibonerezo eky'engassi okusinga okusibwa mu kkomera.

Omulamuzi Asiimwe yasindise Mubiru mu kkomera amaleyo emyaka esatu nti kubanga ye kanaaluzaala w'omusango guno. Nakawuka baamulagidde asasule engassi ya bukadde 4 n'emitwalo 80 w'alemererwa asibibwe emyezi 18.

Omulamuzi yabategeezezza nti baddembe okujulira ssinga banaabeera tebamatidde na nsala ya kkooti eno.

Emisango egyabasinze baagizza mu May 2019 bwe bakkiriza omugugu nnamba C 8677 ogwa 11/05/2019 ogwali gugambibwa nti gulimu ebintu bya pulasitiika kwe batundira engoye, hanga eza pulasitiika kyokka nga mwalimu buwoowo bukalifuuwa, eby'amasannyalaze ,omuceere, n'ebirala ebibalirwamu obukadde 249 n'emitwalo 66 mu lukumi mu 5 ne bafiiriza gavumenti omusolo gwa 161,277,212.

Nakawuka ne Mubiru mu kkooti e Wandegeya gye baakaligiddwa.