ABABAKA ku kakiiko ka palamenti akalondoola entambuza y’emirimu mu bitongole bya gavumenti benyamidde olw’atwala ekitongole ky’ennyonyi mu ggwanga Jennifer Bamuturaki ne banne okubakandaliiriza ne babtuuza okumala esaawa bbiri nga tebalabikako.
Olwaleero akakiiko kano akakulembera Medard Ssegona (Busiro East) kabadde kalina okuddamu okusisinkana aba Uganda Airline okunyonyola ku vvulugu omulala eyalabikira mu alipoota ya ssaababalirizi w’ebitabo bya gavumenti omwaka 2023/24.
Omubaka wa Kasharu South Nathan Itungo yewuunyiza butya ekitongole kino bwekigenda okuddukanya emirimu gyebujja oluvanyuma lwa alipoota okulaga nti ennyonyi ezimu ezagulibwa zinatera okuwuumuzibwa olwa sipeeya obutabaawo.
Omubaka wa Nakaseke Central Allan Mayanja agambye nti nga egyeeko okuba nga tewali sipeeya wa nnyonyi ezimu, alipoota eraga nga engeri bano gyebeyambisamu ensimbi ejudde ebirumira.
Ssentebe w’akakiiko Ssegona ategeezezza nti bano tebalabiseeko wabula nga tebayinza kubaleka kugenda batyo era akalambidde nti balina okulabikako enkya.
Agambye bano okwebuzabuuza kiviirako ensimbi y’omuwi w’omusolo okugenda etyo etyo kubanga ababaka babeera balina okusasulw olw’obudde bwebataddemu wamu n’okulya.
Bwabuuziddwa oba alipoota yabano enasomebwa mu palamenti kubanga eyakolebwa kumulembe gwa Joel Ssenyonyi ye telabikanga okutuusa olwa leero, Ssegona agambye nti ye ku mulembe gwe, alipoota erina okutuuka mu palamenti buli omu najisomako.