POLIISI etegeezezza nga bw'eri mu kwogereganya n'abasuubuzi mu kibiina kya KACITA , okulaba nga batuuka ku nzikiriziganya okwewala ebiyinza okuddako.
Kino kiddiridde oluvuuvuumo oluyiting'ana ng'abasuubuzi baagala okuggala amaduuka gaabwe enkya, olw'omusolo oguyitiridde n'okubowa ebimu ku byamaguzi byabwe.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Kituuma Rusoke, ategeezezza nti, nga bali n'ebitongole ebirala, bagezaako okwogereganya n'abasuubuzi, baleme kugenda mu maaso n'enteekateeka zaabwe n'okwewala obumenyi bw'amateeka obuyinza okuddirira.