Eyali Kaggo Malokwezza afudde ku myaka 96

EYALI omwami ow’essaza Kyaddondo, Tofiiri Kivumbi Malokwezza, 96, nga yeKaggo eyawummula era omuserikale wa Paapa afudde  oluvannyuma lw’okutawaanyizibwa obulwadde okumala emyaka etaano.

Omugenzi Malokweza
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

EYALI omwami ow’essaza Kyaddondo, Tofiiri Kivumbi Malokwezza, 96, nga yeKaggo eyawummula era omuserikale wa Paapa afudde  oluvannyuma lw’okutawaanyizibwa obulwadde okumala emyaka etaano.
Minisita w’amawulire e   Mengo era omwogezi w’Obwakabaka, Israel Kazibwe Kitooke yategeezezza nti Malokwezza yafiiridde mu buliri bwe ku Lwomukaaga Steven Malokwezza omu ku batabani b’Omugenzi yategeezezza Bukedde nti  wiiki nga ssatu emabega,  Omugenzi baamuggye mu ddwaaliro lya Case Clinic gye yali yatwalibwa ne bamuzza awaka nga we bamulabirira.
Yagambye nti leero ku Mmande, omubiri gwa kitaawe wakuguggyibwa mu ggwanika, gutwalibwe mu Klezia ya St. Kizito e Bwaise eno gy’abadde asabiranga buli ku makya, okumusabira.
Omubiri bwe gunaava e Bwaise gwakutwalibwa mu  maka g’Omugenzi e Kazo
mu ggombolola y’e Nabweru. Ku lwokubiri, omubiri gwaguggyibwa awaka, gutwalibwe ku Lutikko e Lubaga okusabirwa era oluvannyuma gwakutwalibwa e Masaka ku kyalo Ngondanti ng’eno gy’anaaziikibwa ku Lwokusatu ku ssaawa  8:00 ez’emisana. KATIKKIRO AMUKUNGUBAGIDDE
Katikkiro wa Buganda, Charles Mayiga akungubagidde omugenzi Malokweza n’amwogerako ng’abadde omwagazi w’Obwakabaka, Obuganda n’eddiini ye
“Amawulire g’okufa kwa Kaggo (Owessaza Kyaddondo) eyawummula,
Omusirikale wa Paapa, Owek. Tofiri Malokweza, gatunakuwazza. Nneebaza Katonda amuwangaazizza (96), n’amusobozesa okuweereza Obuganda ne Eklezia. Abadde musajja ssemaka owannamaddala, omukozi ennyo”, Mayiga  bwe yagambye Minisita wa gavumenti ez’ebitundu mu Buganda, Joseph Kawuki yatenderezza omugenzi olw’obuwereeza bwe yakola mu kitongole kya gavumenti ez’ebitundu era n’asaba Katonda amuwummuze mirembe.