FR. ANTONIOS Mutyaba nga yalabirira ekigo ky'Abatukuvu Constantine ne Hellen mu Tawuni y'e Luweero asabye mu famire n'ebika mutandikibwemu ensawo ewerera ekwatiza ku baana okusoma.
Fr. Mutyaba agamba nti ensangi zino abantu beekolamu omulimu ne basonda ssente okubayisa mu bizibu okuli okufiirwa n'okuziika, okwanjula n'embaga n'ebirala kyokka ate bwetuuka ku kusomesa abaana nebesulirayo ogwannaggamba ng'ate mukulaba kwe kyekyandisinze okuwagirwa.
Okuwabula bwaati abadde ku mukolo gw'okujjaguza okumaliriza emisomo gy'obusomesa okwa Maria Irene Nalubwama Muwala wa Siras Ssenoga ne Rose Nakiyingi ab'okukyalo Kalembwe mu ggombolola ye Katikamu e Luweero.
Fr Antonios ng'asala Cake n'abaana
“Nsaba mu famire zammwe, mu bika n’ebintu ebirala mwemwegattira okuteekawo ensawo ezinabasobozesa okusomesa abaana mu mbeera yonna. Essira muleme kuliteeka ku kwesondamu ssente z’okuziika, okwanjula n’embaga n’ebirala mu kikula ekyo,” Fr. Mutyaba bweyasabye.
Maama w'omujjaguza, Nakiyingi yeebazizza Eklesia olw'okubakwatirako, omwana waabwe n'amaliriza emisomo ate ye Nalubwama yazizza ettendo eri Omutonzi amuyambye okumaliriza emisomo wakati mu kusomoozebwa okungi.
Herbert Kigozi nga ye Ssentebe w'eggombolola ye Katikamu asomoozezza gavumenti okutondawo emirimu eri abaana abamaliriza emisomo baleme kumala myaka nga baginoonya.