Embwa zirumye omukazi ne zimutta e Gombe

ABATUUZE ku kyalo kye Mwererwa mu divisioni ye Gombe baguddemu ekyekango embwa bwezizinzeeko omukyala abadde atambula mu kkubo ne zimulumaluma n’afa nga atuusibwa mu ddwaliro lye Buwamb okufuna obujanjabi.

omugenzi nga bwabadde afaanana
By Wasswa Ssentongo
Journalists @New Vision

ABATUUZE ku kyalo kye Mwererwa mu divisioni ye Gombe baguddemu ekyekango embwa bwezizinzeeko omukyala abadde atambula mu kkubo ne zimulumaluma n’afa nga atuusibwa mu ddwaliro lye Buwamb okufuna obujanjabi.

Afudde ye Jane Nakibirango 50 nga abadde mutuuze ku kyalo kino nga ono abadde yakava ku dduuka okubaako ne byagula kyokka abadde yakatuuka awaka wano embwa ezibadde ennyingi zizze ne zitadika okumuluma nga omutuuze abadde okumpi yazze nazigoba bwatyo wabula zigenze okumuta nga yenna zimulumyelumye.

Wano abatuuze bagezezaako okumuddusa mu ddwaliro wabula n’afira mu kubo nga bamutuusa mu ddwaliro.

Wano abatuuze ku kyalo kino bagambye nti embwa ku kitundu kino zifuuse ez’obulabe kuba abantu bangi kati bali mukutya olwe mbwa zino.

Ssentebe we Gombe Kamya Haruna Ssaalongo agambye nti ekizibu kiri ku bananyini mbwa okuzireka okutayaaya kuba bangi ku batuuze baludde ebbanga nga bemulugunya ku mbwa zino.