Abafiirwa emmaali yaabwe mu muliro babakubye enkata

ABASUUBUZI abaafiirwa emmaali yaabwe mu muliro ogwasanyaawo amaduuka gaabwe n’ebajjiro e Bbiina baduukiriddwa nebawanjagira agavumenti eyongere ku bungi bw’ebimotoka ebizikiriza omuliro singa guba gubaluseewo.

Abmu ku baafiirwa emmaali yaabwe nga bafuna ebintu
By Huzaima Kaweesa
Journalists @New Vision

ABASUUBUZI abaafiirwa emmaali yaabwe mu muliro ogwasanyaawo amaduuka gaabwe n’ebajjiro e Bbiina baduukiriddwa nebawanjagira agavumenti eyongere ku bungi bw’ebimotoka ebizikiriza omuliro singa guba gubaluseewo.

Bano okufiirwa emmaali yaabwe kyaddirira omuliro ogugambibwa okuva ku masannyalaze  ogwasanayaawo amaduuka gaabwe n’ebajjiro era okukakkana nga ebintu byabwe byonna biweddewo.

Abdallah Ssematimbao mu ku baafirwa emaali yabwe mu muliro guno tegezezza nga omuliro bwegwatandika mpolampola nebalowooza nti banaguzikiza kyokka baalabira awo nga gubaremeredde.

Ategezezza nti baakubira abazimyamwoto kyokka nebabategeeza nga bwebaaliko webakyali nga kino kyekyabaviirako okutuuka ekikeerezi emaali yabwe n’esirikka.

Ssematimba asabye gavumenti eyongere ku muwendo gw’emmotoka ezizikiriza omuliro singa guba gubaluseewo kubanga singa waaliwom endala ku olwo omuliro tegwandimqzeewo maali yabwe.

Mariat Nampijja aduukiridde abasuubuzi bano n’ebikozesebwa okuli emifaliso, bulangiti,sabuuni n’emmere ategezezza nga bw’akikoze n’ekigendererwa ky’okulaba nga abantu bano badamu okubezaawo obulamu bwabwe n’asaba n’abo abavaako obuzibu okuvaayo baliyirire abayonoonerwa ebintu byabwe.

Kansala w’ekitundu kino Ibrahim Wandera asabye abatuuze bulijjo okufuba okulaba nga bateekawo embeera etangira omuliro okusasaana singa guba gubaluseewo.