Kitende ekubye Benjami Mkapa n'erinnya ku ntikko y'ekibinja mu mipiira gy'amasomero  egiyindira mu ggwanga lya Kenya

St Mary’s Kitende erinnye ku ntikko ye kibinja eky'okubiri oluvannyuma lw'okuwangula omupiira gwayo ogw'okubiri ogw'omuddiringanwa.   

Kitende ng'ettunka ne Benjamin Mkapa
By Julius Kafuluma
Journalists @New Vision

Kitende 1-0 Benjamin Mkapa (TZ)

Bukedea 3-0 APE Rugunga (RWA)
Buddo 2-0 Kicukiro (RWA)
Amus 1-1 Kizuka SS (TZ)
 
Netball
St. Mary’s Kitende 42-19 Hamdan Islamic SS
St. Noa Girls SS 56-23 Lutozo SS (TZ)
Buddo SS 84-7 G.S Gahini (RWA)
 
Ensero 5x5 Balenzi
Seeta High 42-79 I.T.S Kigali (RWA)
St.Cyprian Kyabakadde 68-38 Kibuli SS
Amus college 75-36 Lumala SS (TZ)
 
Bawala
St. Mary’s Kitende 94-34 Itigi Secondary (TZ)
St. Noa Girls 59-36 Kibuli SS
 
Enkya 
Mupiira
St. Mary’s Kitende  - Agai Secondary (KE)
Buddo SS - Musingu High School (KE)
Amus - Kicukiro (RWA)
Bukedea - EPM Mpanda (BUR)
 
St Mary’s Kitende erinnye ku ntikko ye kibinja eky'okubiri oluvannyuma lw'okuwangula omupiira gwayo ogw'okubiri ogw'omuddiringanwa.   
 
Kitende eggulo yakubye Benjamin Mkapa eya Tanzania goolo 1-0 eyateebeddwa Dennis Kisiriko nga yabadde ya peneti.
 
Kitende yeekulembedde ekibinja eky'okubiri n'obubonero mukaaga nga eddiriddwa Bukedea Comprehensive nayo eya Uganda mu kyokubiri nobubonero mukaaga.
 
Mu kibinja ekisooka Buddo yayongedde okwenywereza ku ntikko nobubonero musanvu oluvannyuma lwokukuba Kicukiro eya Rwanda goolo 2-0.
Abazannyi ba Kitende nga bajaganya

Abazannyi ba Kitende nga bajaganya

 
Bbo bannantameggwa bomwaka oguwedde aba Amus bakyanoonya buwanguzi busooka nga eggulo baagudde maliri aga 1-1 ne Kizuka eya Tanzania nga Kati bebaddiridde abasembye nakabonero kamu.
 
Mu muzannyo gwokubaka Kitende ne St. Noa bakyeriisa nkuuli nga bombi baawangudde emizannyo gyaabwe egyokubiri egyomuddiringanwa.
Kitende yakubye Hamdan Islamic nga nayo ya Uganda 42-19 ate nga St. Noa yakubye Lutozo eya Tanzania goolo 56-23. 
 
Mu muzannyo gwensero mu balenzi I.T.S Kigali eya Rwanda yakubye Seeta High ensero 79-42 ate Amus College nekuba Lumala SS eya Tanzania ensero 75-36.
 
St. Cyprian Kyabakadde yakubye Kibuli SS 68-38. Mu Bawala St. Mary’s Kitende yakubye Itigi SS eya Tanzania 94-34 ate St. Noa Girls nekuba Kibuli SS 59-36.