Katikkiro Mayiga akungubagidde Kaggo Tofiri Malokweza Kivumbi

Katikkiro Mayiga akungubagidde Kaggo Tofiri Malokweza Kivumbi  KATIKKIRO wa Buganda Charles Mayiga akungubagidde omugenzi Tofiri Malokweza Kivumbi n'amwogerako ng'abadde Ssemaka owannamaddala.

Katikkiro Mayiga ng'ali n'omugenzi Tofiri Malokweza lweyamukyalirako
By Dickson Kulumba
Journalists @New Vision
KATIKKIRO wa Buganda Charles Mayiga akungubagidde omugenzi Tofiri Malokweza Kivumbi n'amwogerako ng'abadde Ssemaka owannamaddala.
 
Obubaka bwe bweyayise ku mutimbagano nga bwogera ku mugenzi busoma bwe buti;-
 
Amawulire g'okufa kwa Kaggo (Owessaza Kyaddondo) eyawummula, Omusirikale wa Paapa, Owek. Tofiri Malokweza, gatunakuwazza. 
 
Nneebaza Katonda amuwangaazizza (96), n'amusobozesa okuweereza Obuganda n'Ekereziya. Abadde musajja ssemaka owannamaddala, omukozi ennyo.
 
Tusaba Katonda omwoyo gwe agwanirize. CPM. 
 
EKIF. Katikkiro Mayiga n'Omugenzi Kivumbi Malokweza nga April 22,2025 mu Maka e Kazo- Nabweru lweyagenda okumulambulako