Akamyufu ka bakansala ba NRM kaggweeredde mu kuyiwa musaayi; 120 bakwatiddwa

Akamyufu ka bakansala ba NRM kaggweeredde mu kuyiwa musaayi  

Nga batwala Micheal Kyoya eyakubiddwa obubi ku ssomero lya Old Kampala SS mu Kampala.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

OMUSAAYI guyiise n’amasasi ne ganyooka wakati mu lutalo olubaddewo mu bawagizi ba NRM bwe babadde balonda abakulembeze mu kamyufu k’ekibiina ku mutendera gwa bakansala ku magombolola.
E Jinja, omuvubuka Shafick Mukisa, yakubiddwa amasasi agaamuttiddewo, poliisi ng’eyoola abantu abaasobye mu 100 olw’okwenyigira mu ffujjo. Okulonda kwabaddewo ku Lwomukaaga mu ggwanga lyonna era poliisi yabadde bulindaala ng’egumbulula
abaabadde bakola effujjo.

120 BAKWATIDDWA
Poliisi yakutte abantu abasoba mu 120 mu Kampala n’e Jinja, abagambibwa okukola effujjo mu bifo eby’enjawulo awaabadde okulonda.
Omumyuka w’omwogezi wa poliisi mu Kampala, n’emiriraano Luke Owoyesigyire yagambye nti, emivuyo gy’asinze kubeera mu bitundu okuli; Kampalamukadde, Kansanga, Namuwongo, Kibuli, Kamwokya, Kawempe, Villa Park. Yagambye nti, Kansanga ne Namuwongo waliwo ebibinja by’abavubuka ebyabadde bigezaako okugootaanya okulonda era abamu baatwaliddwa ku poliisi y’e Kabalagala. Yayongeddeko nti, ku Villa Park ekiri mu Kibuli, abaabadde bakuliddemu okulondesa; Sharon Sabiti ne Abdul Nankunda baakwatiddwa  olw’okugezaako okukuutiza ebyavudde mu kulonda ne baggulwako omusango oguli ku fayiro nnamba SD 73/16/08/2025.
KAMPALAMUKADDE
Abawagizi ba Elizabeth Karungibaakubaganye n’aba Omumbejja
Zebia Jjuuko mu kulonda okwabadde ku ssomero lya Old Kampala SS. Omu ku bakanyama yalabirizza omuvubuka Michael Kyoya gwe baabadde balumiriza  nti, yabakozeeko effujjo n’amukuba ehhuumi eyamusudde wansi n’afuuwa omusaayi. Wano we waavudde olutalo. Omumyuka wa Ssentebe w’ekyalo Old Kampala I, Sam Opeto
bwe yagezezzaako okubiyingiramu, abamu ku bavubuka ne bamulumiriza nti, y’ayungudde ababakubye naye ne bamutandikako okukkakkana ng’atonnya musaayi.
Poliisi yalabye embeera esajjuse n’ewandagaza amasasi mu bbanga okubakkakkanya embeera n’edda mu nteeko. Oludda lwa Zabia Jjuuko lwawakanyizza okulonda mu kifo ekyo nti, kwabaddemu okubbira.
E KAWEMPE. Mu miruka 22 egikola Kawempe mu bifo eby’enjawulo, mwabaddemu okukola effujjo era abalonzi baabadde batono nnyo olw’okutya abavubuka abaakoze eggaali ng’abasinga abaabadde bavuganya buli omu yabadde alina ekibinja ekitambula. Abalonzi obwedda bwe bawulira ebibinja nga beekukuma mu mayumba olw’okutya effujjo. Mu muluka gwa Makerere III, eyakuliddemu okulondesayakusazizzaamu oluvannyuma lw’abamu ku baabadde bavuganya okulemwa okukkakkana. Ekifo
kino kyabadde kivuganyizibwamu abantu 4 okwabadde; Herbert Kalenzi, Enock Nuwagira, Noah Mukwaya ne Bakitte Sserumaga ng’ekiseera ky’okubala abalonzi
Bakitte bwe yalabye nga layini yan Mukwaya mpanvu ne yeerangirira nti, awangudde, akavuyo ne katandika.
JINJA : POLIISI ESSE OMUVUBUKA
Poliisi yasindiridde amasasi mu bavubuka abasoba mu 100 abaakwatiddwa mu ffujjo eryakoleddwa mu kamyufu ka NRM e Jinja ne battirawo omu. Byabadde mu kabuga k’e Buwenge mu Jinja. Eyattiddwa ye Shafick Mukisa nti, yabadde agezaako okutoloka, owa poliisi n’amukuba ebyasi mu kifuba n’afiirawo. RDC w’e Jinja, John Bosco Mubiito Mukisa y’omu ku baakwatiddwa nga bateeberezebwa okukola effujjo
mu kulonda Ssentebe wa Buwenge ‘Town council’ ne bakansala ku miruka mu kamyufu ka NRM. Effujjo lyasinze kweyoleka mu kamyufu ka LC3 era ng’abantu 4 be baavuganyizza okuli; Ssentebe aliko, Hassan Isabirye Kinosa, Isima Ozanya, Andrew Wawa Waseme ne Henry Kiswa.