EKIBIINA kya NUP kituuzizza bukubirire omubaka omukazi owa Kampala, Shamim Malende ne sipiika wa KCCA, Zahara Maala Luyirika okulaba nga bamalawo obunkenke wakati waabwe nga battunkira kaadi y’ekibiina ku kifo kya Kampala.
Omumyuka ssentebe wa NUP mu Buganda, Muhammad Muwanga Kivumbi ne
Ssaabawandiisi w’ekibiina David Lewis Rubongoya baatuuzizza Malende ne Luyirika mu kafubo akeetabiddwaamu akulira eby’okulonda mu kibiina Harriet Chemutai ku kitebe kya NUP e Makerere-Kavule. Akafubo kano kaddiridde obunkenke obubadde
butandise okweyoleka mu bawagizi b’enjuyi zombi nga buli ludda luvuma olulala ng’ebyabadde byakasembayo by’ebigambo bya Sauda Madaada (omuwagizi wa Luyirika) okulangira Malende obwa mbega. Waliwo n’abaalumbye Malende nti, yeeyita looya wa NUP so nga si kituufu.
BALABUDDWA OKUGOBWAOluvannyuma lw’akafubo,
Muwanga Kivumbi yategeezezza bannamawulire nti, embeera singa tekyuka ekibiina kyetegefu okubaggya mu lwokaano bombi baleete abantu abalala ssinga tebeekomako n’abawagizi baabwe. “Ekibiina kirina ebigendererwa ebinene okusinga ku mmwe abeegwanyiza obufo bwammwe obutono bwe mulwanira era tetwagala
kuddamu kuwulira ndooliito yonna singa kibalema, obudde tukyabulina
obufuna abantu abalala ku kifo kya Kampala”, Muwanga Kivumbi bwe yalabudde