MUSAWO we Nebbj aguddwako gwa kubba ddagala eribalirirwamu obukadde obusoba mu 24.
Ronald Odyek omutuuze we Nebbi nga akola ku ddwaliro lye Nebbi ye yaleeteddwa abakakiiko ka state house aka Health monitoring unit naggulwako omusango gwokubba eddagala eribalirwamu obukadde 24 n'omusobyo wabula yagwegaanye.
Ono yasimbiddwa mu maaso g’omulamuzi Esther Asiimwe ku kkooti ewozesa obulyake nobukenuzi e Wandegeya eyamusomedde omusango gwobubbi.
Kigambibwa nga August 30 ,2021 ku ttundiro lyeddagala eriyitibwa Imvepi mu disitulikiti ye Madi-Kolo akakiiko kekitogole kye nsi yonna ekiyamba abantu abali mu bwetaavu okukola okunonyereza nabazuukizuula nti Odyek yabba eddagala nebintu ebirala ebikozesebwa mu kujjanjaba nga bibalirirwamu obukadde 24 nomusobyo.
Era empaaba ya kkooti eraga nti bino yabifuna okuva kitongole kye nsi yonna ekiyamba abantu abali mu bwetaavu nga ayita mu linnya lyeddwaliro.
Omuwabi wa gavumenti mu musango guno Getrude Nyipiri yategeezezza kkooti nga okunonyereza bwekuwedde nebasaba obudde okuleeta abajulizi.
Omulamuzi Asiimwe yamusindise ku alimanda e Luzira okutuusa nga August 28 ,2025 lwagenda okuwulira okusaba kwokweyimirirwa kwa Odyek.