GAVUMENTI eri mu nteekateeka y'okussaawo akatale akaawamu , abatunzi n'abasuubuzi b'ebyobugagga eby'omu ttaka , mwe banaasisinkananga okusonjola obuguzi.
Kiddiridde obunyazi bw'ebyobugagga bino okweyongera n'okubba ssente ku babitunda ekireetedde abali mu mulimu guno , okwekengera n'okutya mu ntambuza yaabyo.
Senior Inspector of Mines mu minisitule y'ebyobugagga obwamuttaka, David Sebaggala ategeezezza nti mu nteekateeka eno, baakussaawo ebifo, abasuubuzi, abatunzi , n'ebitongole ebivunaanyizibwako, mwe binaabera okulaba ng'omulimu gukolebwa bulungi.
Annyonnyodde nti waliwo abasuubuzi abagwira bangi, abazze babbibwa mu mivuyo gya zzaabu, nga kino, kivudde butabeerawo butale bw'ankalakkalira.