Bazadde b’omwana Monica Nakitende 12, eyagamba Katikkiro wa Uganda, Robinah Nabbanja nga bazadde be bwe baafiira mu kasasiro e Kiteezi, bavuddeyo ne bamuddukira.
Maama w’omwana ono, Christine Nazziwa eyavudde e Nakasongola, yagambye nti omwana ono yali yamulalukako, n’afuna omuzirakisa eyamuleeta e Kiteezi okumulabirira, kyokka kasasiro bwe yabumbulukuka ne yeeteeka mu bantu abaali bakoseddwa, era yamulabira ku ttivvi ng’agamba bazadde be kasasiro yababisse ekitali kituufu.
Nazziwa baamukwasizza muwala we n’adda e Nakasongola. Ate omukyala omulala Grace Chandia, omu ku bakaawonawo, eyasimattuka okufa, yazadde omwana omulenzi mu ddwaaliro ly’e Komamboga era n’amutuuma erinnya Miracle.