Ababaka basimbula leero okwolekera Gulu awagenda okubeera entuula za Palamenti
Aug 26, 2024
AKEETALO ka maanyi ku palamenti nga abamu ku babaka ba palamenti kw’ossa abakozi beetegeka okusimbula okugenda e Gulu awagenda okubeera entuula za palamenti okumala ennaku ssatu.

NewVision Reporter
@NewVision
AKEETALO ka maanyi ku palamenti nga abamu ku babaka ba palamenti kw’ossa abakozi beetegeka okusimbula okugenda e Gulu awagenda okubeera entuula za palamenti okumala ennaku ssatu.
Enkya ya leero abatwala palamenti bafuulumiza enteekateeka y’okulambika butya abagenda bwe bagenda okutambula kw’ossa n’ez’entuula bwe zigenda okubeera.
Hon. Kangwagye Stephen Rwakanuma Ow'e Bukanga Nga Ayogera.
Leero abasimbudde kuliko abakozi ba palamenti n’ababaka abatonotono nga bano baakweyambisa olugudo lwa Jinja-Iganga-Tirinyi-Palisa-Kumi-Soroti-Lira-Kamdin-Gulu nga n’abanaasimbula enkya baakukozesa lwe lumu.
Emmotoka ezisimbula ziweereddwa essaawa era nga zitandika okutikka okuviira ddala ssaawa 12 ez’oku makya okutuusa mukaaga ez’omu ttuntu.
Enkya Sipiika wa palamenti waakugenda gyeb aziika gwe yaddira mu bigere Jacob Oulanyah e Omoro, oluvannyuma aggulewo ensiisira y’ebyobulamu kw’osa n’okugabira abantu ebintu ku ssomero lya Pece P/S kowsa Gulu Prisons P/S.
Coaster ezitwala abagenda nga zirindiridde.
Ku Lwokusatu wajja kubaawo olutuula lwa palamenti ku kisaawe kya Kaunda Grounds mu kitundu ky’e Bardge- Layibi mu Gulu City.
Ku Lwokuna era wajja kubaawo olutuula lwa palamenti nga luno n’omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni waakwogerako eri eggwanga ate akawungezi wabeewo okuliira awamu eky’eggulo eky’enjawulo.
Ku Lwokutaano era wagenda kubaawo olutuula lwa palamenti olusembayo mu kitundu kino nga olwo ababaka baakudda ku Lwomukaaga ate abakozi ba palamenti bakomewo ku Ssande.
Ezimu Ku Nsawo Z'abagenda E Gulu.
Omubaka akiikirira abantu b’e Bardege- Layibi Martin Ojara Mapenduzi agambye nti waliwo ebibinja ebyetegese okuwaayo okwemulugunya kwabyo e Gulu okuli abavubuka abatalina mirimu, nga omubaka waabwe y’ajja okusoma ekiwandiiko nga n’ebirala kuliko okwemulugunya kw’abakozi kw’ossa abakyala.
Agambye nti guno mukisa okwongera okutunuulira ensonga eziruma abantu b’eno era ne yeewuunya abatannasimbula kiki kye balinda.
Ababaka abalala aboogodde kubaddeko Paul Agaba, Stephen Kangwagye, Fredrick Angura era bategeezezza nti guno mukisa mulungi okutwala palamenti mu bantu ebizibu byabwe biteesebweko nabo nga bawulira.
No Comment