Omusawo eyakwatiddwa embwa ya Poliisi asindikiddwa mu kkomera
Aug 28, 2024
OMUSAWO embwa ya Poliisi gwe yakwata ku by’okumenya ennyumba y’omutuuze n’okubba eby’omumaka asimbiddwa mu kaguli ka kkooti ya Mwanga II e Mengo n’asomerwa emisango gino era omulamuzi n’amusindika ku limanda e Luzira.
By Ssuuna Peter
Journalist @New Vision
OMUSAWO embwa ya Poliisi gwe yakwata ku by’okumenya ennyumba y’omutuuze n’okubba eby’omumaka asimbiddwa mu kaguli ka kkooti ya Mwanga II e Mengo n’asomerwa emisango gino era omulamuzi n’amusindika ku limanda e Luzira.
Ratib Atayo 33, akola gwa busawo, mutuuze w’e Kawaala Zzooni II mu Lubaga y’agasimbaganye n’akulira abalamuzi ba Kkooti ya Mwanga II ow’okubiri Naume Sikhoya amusomedde ogw’okumenya enju n’ogw’okubba gyonna n’agyegaana.
Kigambibwa nti nga August 18, 2024 e Kawaala II, Ratib, Tonny Ssekyanzi ne Alex Mugisha baakwatibwa embwa ya Poliisi ku by’okumenya enju y’omutuuze Richard Mukasa ne babba Ttivvi yinci 50, ebalirirwamu akakadde kamu n’emitwalo 20, Dolla 1000, n’obukadde butaano.
Omuserikale DC 72956 Hamfrey Nahamya eyali akwasaganya embwa yakola sitaatimenti ku Poliisi era abaakwatibwa ne bakunyizibwa okukakkana ng’abasigadde bateeleddwa wabula ye Atayo yasigala ku ffayiro olw’okuba embwa yayingirira ddala mu makage oluvannyuma n’asimbibwa mu kaguli abitebye.
Yatwalibwa ku Poliisi ya Kampalamukadde n’aggulibwako emisango gino ku ffayiro CRB; 2132/2024. Yabuliddwa abamweyimirira era omulamuzi n’amusindika ku limanda e Luzira okutuusa nga September 30, 2024 lw’anaakomawo oluvannyuma lw’omuwaabi wa Gavumenti Micheal Okongo okutegeeza nti okunoonyereza tekunnaggwa
No Comment