Aba MTN MOMO bazzizza endagaano yaabwe obuggya n'ekibiina ekiddukanya omuzannyo gwa Rugby mu ggwanga

Jun 13, 2025

Aba MTN momo bazzizza obuggya endagaano yaabwe n'ekibiina ekiddukanya omuzannyo gwa Rugby mu ggwanga ekya Uganda Rugby Union.  

By Julius Kafuluma
Journalist @New Vision
Aba MTN momo bazzizza obuggya endagaano yaabwe n'ekibiina ekiddukanya omuzannyo gwa Rugby mu ggwanga ekya Uganda Rugby Union.
 
Endagaano eno eyemyaka esatu egenda kutwaliramu ttiimu za uganda eza rugby zonna nga etandikira ku mpaka za Africa Rugby cup ezigenda okutojjera mu ggwanga ku ntandikwa yomwezi ogujja.
MTN MOMO n'abakungu ba Rugby

MTN MOMO n'abakungu ba Rugby

 
Peter odong ssaabawandiisi wa uganda Rugby union ataddeko omukono ku lwa URU ate Dennis kakonge n'ateekako omukono ku lwa MTN momo.
 
Aba MTN beeyamye okugenda mu maaso nga bayambako mu kukuza omuzannyo gwa gwa Rugby mu ggwanga.
Aba MTN MOMO ng'ali wamu n'abakungu ba Rugby Union

Aba MTN MOMO ng'ali wamu n'abakungu ba Rugby Union

 
Mu ndagaano eno aba MTN momo baakutunda ticket ez'empaka za Africa nga bazisazeeko ebitundu ataano ku buli kikumi.
Uganda Rugby union ekakasizza nga ttiimu y'eggwanga bweri mu mbeera ennungi okuteekawo omutendera omulungi mu mpaka ezigenda okubeera e Namboole wakati w'ennaku z'omwezi 8-19 omwezi ogujja
Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});