Amawulire

Omusajja eyasse omuddusi wa Uganda Cheptegei naye afudde

Omusajja Munnakenya eyayokezza Munnayuganda omuddusi Rebecca Cheptegei n’afa, naye afudde olw’ebisago bye yafunira mu njega eno.

Omusajja eyasse omuddusi wa Uganda Cheptegei naye afudde
By: Wilson Williams Ssemmanda, Journalists @New Vision

Nairobi, Kenya

Omusajja Munnakenya eyayokezza Munnayuganda omuddusi Rebecca Cheptegei n’afa, naye afudde olw’ebisago bye yafunira mu njega eno.

Dickson Ndiema Marangach, 32 yayokezza Cheptegei mu maka ge ag’e Endebess okumpi n’ensalo ya Uganda ne Kenya nga September 1, 2024 kyokka naye omuliro ne gumukwatiramu era abadde mu ddwaaliro nga poliisi emulinze awone oluvannyuma abitebye mu mbuga z’amateeka, kyokka naye afudde leero ku Lwokubiri.

Cheptegei gwe baayokya eyafudde.

Cheptegei gwe baayokya eyafudde.

Abasawo baategeezezza nti Cheptegei omuliro gwali gumwokezza ebitundu 80 ku 100 ate ssempappe ono ng’ayidde ebitundu 41 ku 100 nga bombi baddusibwa mu ddwaaliro lya Moi Teaching and Referral Hospital mu kibuga Eldoret.

Ndiema w’afiiridde ng’eteekateeka z’okuziika Cheptegei zigenda mu maaso ku Lwomukaaga luno.

Tags:
Amawulire
Cheptegei
Uganda