Agambibwa okusangibwa n'obuwanga bw'abantu 30 asimbiddwa mu kkooti
Sep 12, 2024
OMUSAJJA agambibwa okusangibwa n’obuwanga bw’abantu 30 kyaddaaki asimbiddwa mu kkooti ya Nateete Lubaga e Mengo n’asomerwa emisango ebiri okubadde ogw’okusangibwa n’ebitundu by’omuntu n’ebyambalo by’amagye.

NewVision Reporter
@NewVision
OMUSAJJA agambibwa okusangibwa n’obuwanga bw’abantu 30 kyaddaaki asimbiddwa mu kkooti ya Nateete Lubaga e Mengo n’asomerwa emisango ebiri okubadde ogw’okusangibwa n’ebitundu by’omuntu n’ebyambalo by’amagye.
Godfrey Ddamulira 50, nga musawo wa kinnansi omutuuze w’e Busega Kitaka zzooni mu Lubaga y’agasimbaganye n’omulamuzi w’eddaala erisooka Amon Mugezi agimusomedde n’amugaana okubaako ne ky’ayogera kuba egimuvunaanibwa gya naggomola.
Omuserikale Ng'alagirira Ddamulira Okuva Mu Kaguli Ka Kkooti.
Okusinziira ku ludda oluwaabi nga lukulembeddwa, Caroline Mpumwire omuwaabi wa Gavumenti, lwateegeezezza nti, Ddamulira nga August 25, 2024 e Busega mu bumenyi bw’amateeka yasangibwa n’obuwanga bw’abantu 30, emba z’abafu omuli amannyo, embiriizi, eggumba ly’ekisambi n’obupapaggyo bw’obuwanga.
Kigambibwa nti era mu kumufuuza, yasangibwa n’ebyambalo by’amagye ebisaleesale okuli obubonero bw’eggye lya Uganda erya UPDF eriri wansi wa Minisitule y’ebyokwerinda ekiteeberezebwa nti yabifuna mu bumenyi bw’amateeka.
Ddamulira yakwatibwa okuva mu ssabo mwe yasangibwa n’atwalibwa ku Poliisi y’e Nateete gye yaggulibwako emisango gino ku ffayiro CRB; 1321/2024 gy’avudde okusimbibwa mu kaguli n’avunaanibwa.
Nga yaakasomerwa, yagezezzaako okusaba okweyimirwa wabula Omulamuzi Mugezi yakamutemye nti kkooti terina buyinza buguwulira wabula nga bw’aba alina ky’asaba, ateekeddwa kukiyisa mu kkooti enkulu ewulira emisango gy’ekika nga kino.
Omuwaabi wa Gavumenti yateegeezezza nti okunoonyereza kukyagenda mu maaso n’asaba kkooti egwongezeeyo okutuusa lw’alimaliriza okukung'aanya obujulizi bwonna bw’aneesigamako okusindika Ddamulira mu kkooti enkulu atandike okuwerennemba n’ogw’okusangibwa n’ebintu by’abantu abaafa.
Kkooti egwongezzaayo okutuusa nga September 23, 2024 lw’anaddamu okulabikako mu maaso g’omulamuzi.
No Comment