Abagambibwa okuggya omuyizi ku ssomero ne bamutta mu bukambwe basindikiddwa mu nkomyo

Sep 17, 2024

OMULAMUZI wa kkooti e Wakiso Evelyne Najjuuko, asindise omukazi mu kkomera e Kigo ku musango gw'okutta omwana wa muggya we mu bukambwe.

NewVision Reporter
@NewVision

OMULAMUZI wa kkooti e Wakiso Evelyne Najjuuko, asindise omukazi mu kkomera e Kigo ku musango gw'okutta omwana wa muggya we mu bukambwe.

Abamu ku baffamire y'omwana eyattibwa

Abamu ku baffamire y'omwana eyattibwa

Joyce Masembe nga musuubuzi mu Kisenyi,  ye yasomeddwa omusango n'omuvuzi wa bbooda Musa Lubega ssaaako omukozi wa waka Hadijah Kennyana.

Bano omulamuzi Najjuuko teyabaganyizza kubaako kye boogera n'abasindika e Kigo okutuusa nga October 2, 2024.

Lubega ng'ava mu kkooti.

Lubega ng'ava mu kkooti.

Kigambibwa nti nga August 15, 2024, bano bajja Faith Kirabo muwala wa Richard Mugarura ku ssomero e Kasengejje, Lubowa n’asooka okumusobyako oluvannyuma ne bamusonseka ebigoye mu kamwa ebyamuviirako okufa.

Omuyizi bwe yali afaanana.

Omuyizi bwe yali afaanana.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});