POLIISI ekyagenda mu maaso n'okubuuliriza ku mugagga Nasser Ruhukire amanyiddwa nga Don Nasser 38 ow’omu Kito mu Kira ku bigambibwa nti aliko abawala bazze akabassanya mu mukwano.
Emisango emirala egimuvunaanibwa kuliko eby’okukukusa abantu, okwenyigira mu butambi obw'obuseegu , okukusa enjaga n'emirala era ng'asuubirwa okusimbibwa mu kkooti ekiseera kyonna.