Haji Kigongo ne Namyalo bataddewo ekibinja okukuuma akalulu ka Museveni aka 2026
Sep 29, 2024
HAJJI Moses Kigongo atongozza kaweefube w’okukuuma akalulu ka Pulezidenti Museveni mu kulonda kwa 2026 mu nteekateeka mwe batandise okuwandiika bavubuka145,620 okwetoolola Uganda yonna Omukolo gw’okutongoza kaweefube ono, Hajji Kigongo nga ye mumyuka asooka owa ssentebe wa NRM yagukoledde Kyambogo ku kitebe kya ofiisi ya ssentebe wa NRM ekulirwa Hajat Hadijah Namyalo, Hajji Kigongo yagambye nti mu kaweefube w’okukuuma obululu bwa Pulezidenti atuumiddwa “VoteProtectors Exercise” bagenda kuwandiika abantu 145,620 n’annyonnyola nti essira bagenda kulissa ku bantu abalina empisa era abakkakkamu.

NewVision Reporter
@NewVision
HAJJI Moses Kigongo atongozza kaweefube w’okukuuma akalulu ka Pulezidenti Museveni mu kulonda kwa 2026 mu nteekateeka mwe batandise okuwandiika bavubuka
145,620 okwetoolola Uganda yonna Omukolo gw’okutongoza kaweefube ono, Hajji Kigongo nga ye mumyuka asooka owa ssentebe wa NRM yagukoledde Kyambogo ku kitebe kya ofiisi ya ssentebe wa NRM ekulirwa Hajat Hadijah Namyalo, Hajji Kigongo yagambye nti mu kaweefube w’okukuuma obululu bwa Pulezidenti atuumiddwa “Vote
Protectors Exercise” bagenda kuwandiika abantu 145,620 n’annyonnyola nti essira bagenda kulissa ku bantu abalina empisa era abakkakkamu.
Yayongeddeko nti NRM tegenda mu ntalo ziteetaagisa era buli lutalo lwegendamu ebeera ajja kuluwangula kubanga bo tebagezaako geza wabula bajja bamalirivu okuwangula era alabudde abantu baabwe abagenda okukuuma akalulu ka Museveni okweyisa obulungi.
Kigongo yasiimye Hajati Namyalo olwa kaweefube ono gw’agenda kukulembeeramu era n’amusaba nti abavubuka bano balina okukwata enkola eno n’obwegendereza
obutayonoona linnya lya kibiina. Namyalo yayise abantu baabwe ababadde mu kisinde kya PLU ekibadde kikulemberwa Gen. .Muhoozi okubeegattako era baanirizibwa
okwegatta ku NRM.
“Abamu ku mwe mbadde nkola naamwe kubanga mbadde nkimanyi nti Museveni agenda kuvuganya ku kalulu ka 2026 era bye nkola byonna nkola bintumiddwa mukama wange ssentebe wa NRM era Pulezidenti we ggwanga,’’ bwe yagambye. Namyalo yalabudde abantu abeeyita abakungu mu NR omuli ne baminisita abagezaako okulwanyisa emirimu gye kubanga ye yasimbudde era tayinza kudda mabega okutuusa nga mukama we amaze okuwangula akalulu ka 2026.
Kaweefube wa Namyalo ne Kigongo okuwandiisa abagenda okukuuma akalulu ka ssentebe waabwe kiddiridde Pulezidenti yennyini okuvaayo gye buvuddeko n’agamba nti alina obukakafu nti aba NUP mu kalulu akawedde babba obululu bwe obusukka mu
kakadde kalamba ky’agamba nti ku mulundi guno tagenda kukikkiriza.
Namyalo yagambye nti abantu be bagenda okuwandiisa balina okubeera wakati w’emyaka 20 ne 40 era nga buli ku kyalo bagenda kuwandiisa abavubuka babiri nga
balina obuyigirize obutandikirwako bwa S4, n’abalala babiri okuva ku magombolola ng’abalala balina okubeera n’obuyigirize bwa S.6 Okusinziira ku kakiiko k’ebyokulonda Uganda mulimu ebyalo ebiri mu 70,626 n’amagombolola 2,184 ekitegezza nti abantu 145,620 be bagenda okuwandiisibw okukuuma akalulu
ka Museveni
No Comment