Eby’okutta maneja w’essundiro ly’amafuta e Bweyogerere birimu olukwe

Oct 01, 2024

POLIISI etandise okunoonyereza ku bigambibwa nti okutemulwa lwa mukyala Agnes Nantongo abadde maneja w’essundiro ly’amafuta birimu olukwe olugazi.

NewVision Reporter
@NewVision

POLIISI etandise okunoonyereza ku bigambibwa nti okutemulwa lwa mukyala Agnes Nantongo abadde maneja w’essundiro ly’amafuta birimu olukwe olugazi.
Nantongo yattiddwa mu bukambwe omulambo gwe ne gusuulibwa mu kisiko ku mabbali g’oluguudo lwa Northern bypass nga kigambibwa baamussizza katoffaali ka ppeeva era nga baabadde bakasibye mu sikaafu enzirugavu.
Abaamusse baamukoonyekoonye mu maaso nga bw’omutunuulira tekiba kyangu kumutegeera nga kino bambega ba Poliisi baakitapuse okutegeeza nti abaamusse baabadde n’ekigendererwa eky’okumutta mu bulumi nga bafaanana okuba nga babadde bamulinako ekiruyi!.

Ekirala ekyakanze bambega abanoonyereza ku ttemu lino be batemu okumaliriza okutta
Nantongo omulambo gwe ne baguvuunika wansi omuzimu gwe guleme kubalondoola.
Nantongo, abadde akola ne kkampuni y’amafuta ga Africa Oils Petrol Station e Bweyogerere era okusinziira ku bakozi banne, baasemba okumulaba ku Lwomukaaga
nga September 28, ku ssaawa 12.00 ng’ava ku mulimu ayolekera oluguudo lwa bypass.
Ensonda zaategeezezza Bukedde, nti ekifo w’abadde akolera wabaddewo entalo, era nga gwe yaddira mu bigere nga December, 27, 2023, mu kifo ky’obwamaneja (Stephen
Akabwayi) yakwatibwa Poliisi y’e Bweyogerere ku bigambibwa nti yali abulankanyizza ssente za kkampuni obukadde obusoba mu 35. Ng’amaze okudda mu bigere bya Akabwayi, waayitawo akaseera katono omukozi omulala ayitibwa Vincent Mucunguzi, n’situkira mu ssente za kkampuni obukadde munaana n’amalamu omusubi. Wano bannannyini kkampuni we baasinziira ne balagira Nantongo, mu kiti kye nga Maneja okukola ekisoboka okulaba nga Mucunguzi akwatibwa era n’akituukiriza. Omusango guno guli mu kkooti y’e Kasangati era nga Maneja Nantongo, y’abadde omujulizi omukulu.
NANTONGO ALWANA ENTALO Z’E KAWEMPE
Kigambibwa nti bwe yali tannatwalibwa ku ttabi ly’e Bweyogerere, Nantongo yasookera ku ttabi ly’e Kawempe nga nayo yali maneja. Wabula mu ngeri etaategeerekeka bulungi, bakamaabe baamuwummuza ku mulimu okumala kumpi ebbanga lya myezi etaano.
Oluvannyuma kyategeerekeka nti waaliwo ssente ezaali zibuze kyokka ng’abamu ku bakozi be baali bazibuzizzaawo. Poliisi yayingira mu nsonga zino ne kizuulibwa nti Nantongo teyakirinaamu mukono era nga wano bakamaabe kwe baasinziira okumuyita okuddamu okukola ne bamutwala ku ttabi ly’e Bweyogerere.
Okuttibwa kwa Nantongo kwannyogozza bakozi banne nga bagamba nti abadde bboosi naye nga sikyangu kukimanya anti nga buli omu amuyisa ky’ekimuShadrack Bunamukye, omu ku kabozi banne yategeezezza Bukedde, nti nga September 1 ge gaali amazaalibwa ga Nantongo, era beekolamu omulimu ne basonda ssente ne bamukolera akabaga ku Maok Gardens, nga tebamanyi nti yali abasiibula.
Yategeezezza nti okuva lwe yabeegattako abadde akoze enkyukakyuka ku ssundiro lyabwe omuli okubalongooseza kaabuyonjo era nga ne bakasitoma abadde abanguyira
nnyo nga ne mu kutegeka akabaga ke ak’amazaalibwa nabo ssente baasonda.
Kizuuliddwa nti Nantongo ku mulimu abadde atuukawo wakati w’essaawa emu n’ebbiri ez’oku makya n’avaawo olw’eggulo wakati w’essaawa 12.00 ne 2.00.
Wabula kigambibwa nti ebiseera ebimu badde asula mu ofiisi bwe wabaawo amafuta
g’aba alinda ng’atidde okutambula ekiro kubanga abadde asinga kukozesa ntambula
ya ttakisi okugenda e Matugga gy’abadde abeera.
NANTONGO YE ANI?
Yazaalibwa September 1, 1982, omugenzi David Kamulegeya ne Deborah Nalwadda, abaali babeera e Kiwatule mu Divisoni y’e Nakawa mu Kampala. Yasomera pulayimale ku Shimon Demonstration School, gye yava ne yeegatta ku Kikyusa High School,
gye yamalira siniya eyookuna n’agenda ku Kiryagonja SDA gye yasomera S5 ne S6.
Yeeyongerayo ku yunivaasite y’e Kyambogo gye yakoonola diguli mu by’okusomesa abantu abakulu (Adult Education) Lucky Milly, omu ku b’oluganda lw’omugenzi yategeezezza Bukedde, nti bazadde baabwe baabaleka bakyali bato nnyo era nga Nantongo ye yali omwana owookusatu ku baana ekkumi (abawala musanvu n’abalenzi basatu), kyokka nga mu nnyaabwe, ye yali omwana asooka. W’afiiridde ng’alina abaana babiri; Cynthia Kirabo, 15, ne Chris Mutwale, 11. Eggulo, olumbe lwakumiddwa mu maka ga taata w’omugenzi omuto-Fred Kikabi, nnannyini kkampuni ya Foot-Steps- Furniture, agasangibwa e Kiwatule.
POLIISI BY’EZUDDE:
Omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emiriraano, Patrick Onyango yategeezezza nti omulambo gwa Nantongo baagusanze guvuunikiddwa mu kisiko mu Zooni ya Kireka A, okumpi n’oluguudo lwa Northernbypass, oluvannyuma lw’okutemezebwaako abatuuze.
Poliisi egamba nti ebikwata ku mugenzi tebaasooka kubimanyirawo nga baakamuzuula ku Ssande ku makya, era nga kiteeberezebwa nti yattibwa ku Lwamukaaga. Poliisi era yakozesezza kkamera ya bbanka eriraanye essundiro y’amafuta omugenzi w’abadde akolera ne bakizuula nga bwe yabadde avaawo, yatambuza bigere, kyokka nga we baamuttidde tewaabadde kkamera era nga kikyali kizibu okumanya abaamusse.
Wabula waliwo emmotoka ekika kya Toyota Mark X gye bagezaako okulondoola oluvannyuma lw’okufuna amawulire nga galaga nti emmotoka eno yalabwako ku ssundiro ly’amafuta kyokka oluvannyuma n’esimbula nga tenywedde mafuta amangu ddala nga maneja yakafuluma ofiisi ye.
Poliisi era egamba nti okunoonyereza ku ttemu lino kukyagenda mu maaso okuzuula ekituufu ekyavuddeko omugenzi okuttibwa. Abatuuze ab’enjawulo abaliraanye webattidde omugenzi baalaze okutya olw’ettemu erizzeemu ku luguudo lwa Northernbypass ne basaba abeebyokwerinda okwongeramu
amaanyi n’amataala agamala mu kitundu kyabwe.
Eby’okuziika: Leero ku Lwokubiri nga October 1 omugenzi lw’asuubirwa okuziikibwa ku biggya bya bajjajjaabe ku kyalo Kasengejje, mu disitulikiti y’e Wakiso

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});