Bajjumbidde ebigezo bya Pre PLE wa Bukedde

Oct 15, 2024

EBIGEZO bya Bukedde ebiteekateeka omuyizi wa P7 nga yeetegekera ebya PLE  eby’akamalirizo, bitandikidde mu ggiya mu masomero ag’enjawulo okwetooloolaeggwanga

NewVision Reporter
@NewVision

EBIGEZO bya Bukedde ebiteekateeka omuyizi wa P7 nga yeetegekera ebya PLE  eby’akamalirizo, bitandikidde mu ggiya mu masomero ag’enjawulo okwetooloola
eggwanga.
Eggulo amasomero gaatandise n’ekigezo ky’okubala, olwaleero bagenda kukola Social Studies, enkya ku Lwokusatu bakole Ssaayansi, ate ku Lwokuna basembyeyo ekigezo ky’Olungereza.
Ebibuuzo bino bigendereddwaamu okulaba ng’omuyizi ateekebwateekebwa bulungi, n’alema kukubwa mameeme ng’atuuse ku bigezo by’akamalirizo.
Ansa z’ebibuuzo bino, zigenda kufuluma wiiki ejja, okuva ku Mmande nga October 21, 2024 okutuuka ku Lwokuna nga October 20, 2024.
Amasomero Bukedde ge yasobodde okutuukamu eggulo, okwabadde Kabingo II P/S e
Ntungamo, Learners of Hill View e Wakiso, Kiddawalime Prep.
P/S, St. Jude P/S Namungoona, Paradise Junior School - Nsaggu n’amalala, yasanze abayizi basanyufu olw’okufuna omukisa gw’okwegezaamu nga tebannatuuka ku bigezo by’akamalirizo.
Omukuhhaanya w’olupapula lwa Bukedde Michael Mukasa Ssebbowa, yagambye nti ebibuuzo bino bitegekebwa abasomesa abakugu, nga bafuba okubifaananya n’omutindo UNEB kw’ebuuliza, okusobola okuwagala obulungi obwongo bw’omuyizi.
Abasomesa bano nga be bamu ku basinga obulungi mu ggwanga,  bazze bagoberera enteekateeka y’ekitongole ekivunaanyizibwa ku bisomesebwa abayizi ekya National Curriculum Development Centre (NCDC), era kwe basinziira okutegeka ebibuuzo bino.
Wadde nga Bukedde akuleetedde ebibuuzo ebinaayamba omwana wo okuyita obulungi, ye asigaddeyo ku nnusu 1,000/- zokka, era abazadde, bannannyini masomero, abakulu b’amasomero, n’abantu abalumirirwa ebitundu gye bava, mukubirizibwa okugulira
abayizi empapula zino. Ebyafaayo biraga nti okuva Bukedde lwe yatandika okufulumya
ebigezo ne Ansa mu katabo kaayo aka Pass PLE, buli muyizi eyettanira okukola ebibuuzo bya Bukedde tayinza butayitira waggulu.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});