Amawulire

Minisita avumiridde abaweebwa ensigo ne bazitunda

ABALIMI mu disitulikiti ya Nakaseke baweereddwa emmwanyi ekika kya "cutting'' ne basabibwa okwewala okuzitunda n'okuziragajjalira wabula bazisimbe munkuba eri mu kufukumuka okusobola okulwanyisa obwavu.

Minisita avumiridde abaweebwa ensigo ne bazitunda
By: Kanyike Samuel, Journalist @New Vision
ABALIMI mu disitulikiti ya Nakaseke baweereddwa emmwanyi ekika kya "cutting'' ne basabibwa okwewala okuzitunda n'okuziragajjalira wabula bazisimbe munkuba eri mu kufukumuka okusobola okulwanyisa obwavu.
 
Minisita omubeezì owa Kampala Kabuye Kyofatogabye yasinzidde Kiwoko ng'agabira emmwanyi abavubuka, abakyala, aba Bodaboda n'abaliko obulemu n'agamba nti gavumenti ezzenga egabira abantu ensigo omuli ez'emmwanyi, mawogo, miyembe, micungwa, cocoa, ebitooke, kasooli, bijanjaalo, ente, embuzi n'enoko okubasobozesa okugoba obwavu ng'ababijjumbira bagamyuddwa.
 
Yanokoddeyo emmwanyi ezitumbudde enfuna y'abalimi olw'okulinnya ebbeeyi, amatooke n'emmere endala biyaayanirwa n'asaba abantu naddala abavubuka onutasuulirira bulimi.
 
 
Yabasabye n'okujjumbira enteekateeka ez'okugoba obwavu omuli  PDM, Emyooga, 4 acre model n'endala.
 
Kyofatogabye yasabye abantu okubeera abeegendereza mu kulonda okubindabinda balonde abakulembeze abasobola okubasakira n'ababalumirirwa.
Tags: