Amawulire

Be baakwata lubona nga batema emiti mu Mabira kkooti ebasindise Luzira

Abdu Masiga 31 ne Ian Agea 20 abatuuze b’e Wabusolo mu ggombolola y’e Ntunda e Mukono basimbiddwa mu kkooti y’amazzi, obutonde bw’ensi, ebirira, amasanyalaze ne bavunaanibwa okutema emiti mu kifo ekyalekebwawo okukuuma obutonde.

Be baakwata lubona nga batema emiti mu Mabira kkooti ebasindise Luzira
By: Margaret Zalwango, Journalist @New Vision

Ababadde batema emiti mu Mabira kkooti ebasindise Luzira.

 

Abdul Masiga 31 ne Ian Agea 20 abatuuze b’e Wabusolo mu ggombolola y’e Ntunda e Mukono basimbiddwa mu kkooti y’amazzi, obutonde bw’ensi, ebirira, amasanyalaze ne bavunaanibwa okutema emiti mu kifo ekyalekebwawo okukuuma obutonde.

 

Omulamuzi Gladys Kamasanyu yabasomedde omusango gw’okukolera emirimu egitakkirizibwa mu kibira nga batema emiti.

 

Bano bakkiriza omusango ne bategeeza nti nga November 3, 2026 baasangibwa nga batema emiti mu Mabira kyokka nti baatwalibwayo gwe baayise “omugagga” n’abagamba bagenda kumalayo essaawa bbiri zokka.

 

Bano baagambye nti poliisi bweyajja , omugagga baamusanga agenda era poliisi gwe beebuuzaako masiini gy’ekaabira kyokka n’adduka n’abalekawo.

 

Omulamuzi era yategeezezza Agea nti ezo enviiri bagenda zimusalako mu kkomera alabike bulungi bw’atyo n’abasindika mu kkomera okutuusa nga November 24, 2026 lwe banadda oludda oluwaabi lubuulire kkooti ebikwata ku musango mu bufunze.

Tags:
Luzira
Kkooti
Mabira
Kutema