Omugagga ayongezza ekizimbe abasuubuzi ne beekalakaasa
Oct 21, 2024
EBYOKWERINDA binywezeddwa nga KCCA emenya obuyumba mu kizimbe ky'omugagga w'omu Kampala,wakati mu basuubuzi okwekalakaasa olw'okubongeza ez'obupangiza.

NewVision Reporter
@NewVision
EBYOKWERINDA binywezeddwa nga KCCA emenya obuyumba mu kizimbe ky'omugagga w'omu Kampala,wakati mu basuubuzi okwekalakaasa olw'okubongeza ez'obupangiza.
Okwekalakaasa kuno kubadde ku kizimbe kya Capital Centre ku luguudo lwe Nabugabo mu Kampala nga kyadiridde abakozi b’omugagga okukokera obuyumba munkubo z’ekizimbe ssaako omugagga okubongeza ssente z’obupanngisa emitwalo 90, buli dduuka ssaako okubalagira okumuwa ekanzu nga landiroodi.

Abasirikale nga bazze okutangira obujagalalo
Isaac Migadde omu ku basuubuzi abakolera ku kizimbe kino ategeezezza nti amateeka galagira landiloodi okuwa omupangisa okulabula kwa myezi esatu ng’anayongeza ekitakoleddwa nga kino kye kyabawaliriza okuggala amaduuka gaabwe.
Agambye nti babadde bakyali ku kyakubongeza za bupangisa ate omugagga nalagira buli musuubuzi okumuwa ekanzu eva ku bukadde 5 okudda waggulu okusinzira ku bunene bwedduuka ssaako okukokera obuyumba mu nkubo.
Bano bekubidde enduulu mu kitongole ki KCCA, ekyasitukiddemu nekimenya obuyumba obwabadde bukokeddwa mukizimbe kino ekyakoleddwa wakati mu by’okwerinda ebyamanyi munda ne wabweru w’ekizimbe.
Abasuubuzi bagumbye ku ofiisi z’omugagga Drake Lubega agambibwa okugula ekizimbe kino okuva ku John Ssebalamu abadde landiroodi okubanyonyola wabula tebamusanzewo nga kigambibwa nti bino byonna bikoleddwa mu bbanga lya wiiki emu ng’ekizimbe kikyusizza obwanaanyini.
Abakulembeze baabasuubuzi nga bakulembeddwamu akulira ekibiina ky’abasuubuzi abakolera mu Arcade ki UATEA Edward Ntale yategeezezza nti bakoye okujoogebwa abagagga buli kiseera nagamba nti kyannaku nti omugagga ne bwe yayitiddwa mu lukiiko okwogerezeganya n’abasuubuzi yaganye okujja nga kati basazeewo okugenda mu maaso n’akediimo kaabwe.

Omusirikale ng'ayogerako eri abasuubuzi
Munsisinkano eyayitiddwa omukwanaganya wa poliisi n’omuntu wabulijjo ku CPS mu Kampala eyetabiddwamu abakulembeze babasuubuzi n’abamu ku basuubuzi be kizimbve kino yagudde butaka oluvannyuma lw’omugagga Lubega obutalabikako.
Omugagga Lubega bwatukiriddwa yeganye eky’okubeera nakakwate ku kizimbe kino nga ne bye bamulumirizza yagambye nti tabimanyi era tabirinako kakwate.
Mmeeya wa Kampala Central Salim Uhuru agambye nti kikyamu abagagga okwongeza abasuubuzi mu mbeera ye by’enfuna gyetulimu era neyebaza KCCA olw’okusitukiramu okuyamba abasuubuzi.
‘’Buli muntu yetaaga munne abagagga n’abapangisa n’olwekyo walina okubeerawo okukwatagaana’’Uhuru bwe yateegezezza
Agambye ti abasuubuzi balina emisoso mingi egy’okusasula okuli amasannyalaze,omusolo gwa URA n’ebiralala nga sikyabuntu bulamu abagagga okumala gabongeza.
Related Articles
No Comment