Ogw'okubba kateni gubasibisizza e Luzira!

Nov 04, 2024

Abavubuka 4 basindikiddwa ku limanda ku bigambibwa nti babba kateni.

NewVision Reporter
@NewVision

Omulamuzi ku kkooti ya Buganda Road, Winnie Nankya Jatiko, asindise abavubuka bana mu kkomera e Luzira oluvannyuma lw’okubasomera omusango gw'okubba kateni ezibalirirwamu obuwumbi 3.

Abavubuka Abagambibwa Okubba Kateni nga bali mu kaguli ka kkooti.222

Abavubuka Abagambibwa Okubba Kateni nga bali mu kaguli ka kkooti.222

Abatwaliddwa ku limanda ye Hamza Mugumya 33, omukozi w’omudduuka omutuuze wa Bulwadda Cell mu disitulikiti y’e Wakiso, Yusuf Junior Kiruuta 29,  omutuuze w’e Mutundwe Kirinyangabo Bunamwaya mu diviizoni y’e Makindye Ssaabagabo.

Ku balala kuliko Ivan Zziwa 28 omutuuze wa Namugongo Mbalwa mu disitulikiti y’e Wakiso ne John Tamale 27 omutuuze w’e Kiwanda Jomayi e Seeta mu disitulikiti y’e Mukono.

Abaana baaguddwako emisango ena omuli okubba n’okufuna ebintu ebibbe ekikontana n'amateeka agafuga eggwanga.

Kigambibwa nti Mugumya, Kiruuta n’abalala abatannaba kukwatibwa, wakati wa 2018 ne 2022 ku kizimbe kya Eagle Plaza mu Kiyembe mu disitulikiti y’e Kampala n’e Bweya Kajjansi, babba ebintu okuli kateni, ebyuma ebizikwata n'ebintu ebirala ebyali bibalirirwamu obuwumbi 3 n’okusoba nga bino byali bya Hajji Sulaiman Lwabuuka Kasule

Bano era bagguddwako omusango gwakufuna ebintu ebigambibwa okubeera ebibbe oba nga bamanyi  balina ensonga ezikakasa nti byabbibwa oba byafunibwa mu bukyamu.

Omuwaabi wa gavumenti mu musango guno, Allan Mucunguzi yategeezezza kkooti nga okunoonyereza ku buzzi bw’emisango gino bwe kukyagenda mu maaso era bano baasindikiddwa ku limanda e Luzira okutuusa nga  November 14, 2024.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});