Abettima batemudde omusuuubuzi w'amayirungi ne bamuleka nga bamusobezzaako
Nov 23, 2024
Poliisi eri ku muyiggo gw’abazigu abaatemudde omusuubuzi w’amayirungi mu Ndeeba, bwe baamusozze ekiso ku mutwe ne bamusobyako n’oluvannyuma ne babulawo omulambo ne bagulekaawo

NewVision Reporter
@NewVision
Poliisi eri ku muyiggo gw’abazigu abaatemudde omusuubuzi w’amayirungi mu Ndeeba, bwe baamusozze ekiso ku mutwe ne bamusobyako n’oluvannyuma ne babulawo omulambo ne bagulekaawo.
Bino byabadde mu zzooni ya Betania mu Ndeeba okumpi n’akatale k’e Kibuye ku luguudo lw’eggaali y’omukka mu kiro ekyakeesezza eggulo ku Lwokutaano.
Egimu Ku Mikwano Gya Namanda Nga Giri Mu Maziga.
Percy Namanda 48, omutuuze w’e Kasenge nga mu Ndeeba abadde akolerayo mulimu gwa kutunda Mayirungi, ye yatemuddwa mu bukambwe abazigu bwe baamusozze ekiso ku mutwe ne babulawo.
Kiteeberezebwa nti abamu ku bakaasitoma abazze okuliira amayirungi ewuwe mwe mwajjidde abatemu abaamumizizza omukka omusu nga kiteeberezebwa nti baamaze kumusobyako olw’embeera y’omulambo mwe gwasangiddwa ng’amagulu gasuuliddwa erudda n’erudda nga wansi engoye zaambuddwamu.
Omuserikale Nga Yeetegereza Akayumba Mwe Battidde Namanda. Mu Mulyango Gwe Mulambo.
Omulambo gulabiddwa omu ku batuuze eyabadde agenda mu katale e Kibuye eyalabye akayumba ka Namanda nga kaggule nga waaliwo kateni, kye yeewuunyizza kuba Namanda tatera kukeera kukola.
Yamuyise nga tayitaba bwe yasembedde okwetegereza ng’amulengera agangalamye mu kitaba ky’omusaayi.
Yaakubye enduulu eyasombodde abantu ne batemya ku ssentebe w’ekitundu owa zzooni ya Betania Godfrey Kiragga Mukuyye naye eyakubidde poiliisi y’e Katwe essimu okujja okulaba embeera.
Omuserikale ng'aliko by'abuuza muwala w'omugenzi.
Mukuye agamba nti obuzibu bwe basinze okusanga mu kitundu kya Ndeeba, be bamenyi b’amateeka okubeera abangi nga basinga ku bantu balamu ababeera mu kitundu, ate nga bangi tebamanyiddwa kuba ekitundu kisomba buli omu, ekireetera obumenyi bw’amateeka okweyongera.
Ono agamba nti, nabo ng’abakulembeze baalemererwa dda okukuuma ekitundu, kuba lwe baagezaako okusula nga bakuuma, abazigu bakkakkana ku w’ebyokwerinda ne banne bwe baali bakola ogw’obukuumi ne babateematema ebiso era emagombe baasimbayo ekitooke.
Omulambo Gwa Namanda Nga Guteekebwa Ku Kabangali.
Yasabye poliisi okutaasa embeera ya Ndeeba naddala ababeera n’okukolera okumpi n’akatale k’e Kibuye okuliraana oluguudo lw’eggaali y’omukka, gy’agamba nti obumenyi bw’amateeka bungi.
Poliisi y’e Katwe etuuse wamu n’embwa yaayo ekonga olusu, oluwunyizza ku mulambo etandise okutambula mulambaalo okutuuka ku luguudo lwa Ntebbe Raod n’etuula, ekiraga nti abatemu olwamaze omulimu ne balinnya mmotoka ne beeyongerayo.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Patrick Onyango akakasizza okutemulwa kwa Namanda, n’asaba abantu nti alina amawulire g’alina ageekuusa ku kutemulwa kw’omukyala ono abayambye ababuulireko mu kyama, kuba batandise okunoonyereza naye tebalina kye baazudde.
No Comment