ABANTU Mukaaga abagambibwa okusangibwa n'ebyuma by'emmotoka ebibbe, bakwatiddwa

ABANTU Mukaaga abagambibwa okusangibwa n'ebyuma by'emmotoka ebibbe, bakwatiddwa

ABANTU Mukaaga abagambibwa okusangibwa n'ebyuma by'emmotoka ebibbe, bakwatiddwa
By Godfrey Kigobero
Journalists @New Vision

ABANTU Mukaaga abagambibwa okusangibwa n'ebyuma by'emmotoka ebibbe, bakwatiddwa mu kikwekweto ekikoleddwa mu Kampala.

Ekikwekweto kino, kikoleddwa mu Ndeeba, Bwaise, Sauri yako, City Centre, Bwaise era ng'abakwatiddwa kuliko Frank Mumbai, Eddy Byesigwa era nga kigambibwa nti bano, bebalonkomye bannaabwe abalala be babiguza.

Abalala abakwatiddwa, kuliko Lawrence Sebina okuva e Nateete, Frank Kateregga ow'e Bwaise, Muhammed Zziwa okuva mu City Center , ne Nnalongo Dorthy Nabankema owomu Ndeeba.

Kigambibwa nti bano, babasanze n'ebintu okuli 422 Renken Oli ne Fuel Filters empya era ng'ebizibiti, bikuumirwa ku poliisi e Nateete.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala Patrick Onyango, ategeezezza nti abasoose ababiri, be balonkomye abasuubuzi be bazze babiguza, nabo kwe kubakwata.