POLIISI etandise omuyiggo ku kabinja kómuyimbi Patrick Mulwana amanyiddwa ennyo nga Alien Skin aka Fangone Forest ku bigambibwa nti benyigidde mu kukuba eyali memba waako Wilferd Namuwaya amanyiddwa nga Top Dancer naafa ng'áddusibwa mu ddwaliro e Mulago.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala némirirwano Patrick Onyango agambye nti poliisi eri mu kunoonya Alien Skin n'abalala mu kabinjake okuli Commander Mudoogo, Ibra Kabadiya, Musomali ne Mijaguo nga gyemitwe emikulu mu kabinja ka Fangone Forest ku byókufa kwa Top Dancer.
“Twagala okutegeza nti poliisi tetudde ku byómuvubuka eyakubiddwa abagambibwa okubeera mu kabinja kómuyimbi Alien Skin aka Fangone kuba amawulire getulina galaga nti bebabadde emabega wókumukuba n'afa era mu kiseera kino bali mu kunoonyezebwa bavunanibwe”Onyango bwe yagambye.
Agambye nti okusinziira ku alipoota okuva mu bantu Namuwaya yanonebwa okuva gyasula mu Ndeba nga September 20 2025 omuntu amanyiddwa nga Musomali nga naye alina akakwate ku Fangone Forest n'amutwala.
Ategeezeza nti Top Dancer bweyatusibwa mu kitebe kyákabinja kano e Makinndye kigambibwa nti Alien Skin yalagira ababaaya be okukangavula Top Danncer ngámulanga okuva mu kabinja nga tafunye lukusa era ne bamukuba bubinnyo oluvanyuma ne bamutwala ne bamusuula mu Mpomba zooni mu Ndeeba omuzira kisa weyamusanga n'amuddusa mu ddwaliro okufuna obujanjabi wabula abasawo ne bakakasa okufa kwe nga September 22 2025.
Agambye nti poliisi ezze efuna alaipoota némisango okuva mu bantu abenjawulo nga bemulugunya ku kabinja kya Fangone Forest nga bakalumiriza okubakuba nókubatusaako ebisago nadala abo abaliko bamemba mu kabinja kano nga bamu batya okuvaayo nga batya okulumbibwa.
Agambye nti poliisi eri kumiyigo okukwata buli memba wa kabinja kano asobole okuvunanibwa kubababsinga basongebwako ku misango gyókukuba abantu néfujjo