Ssentebe wa NRM mu kibuga Masaka, Rogers Bulegeya asiimye Offiisi ya Pulezidenti olw'okuwuliriza omulanga gwabwe n'esazaamu okukyusibwa kwa RCC wa Masaka City, Ahamada Washaki.
Ahamada Washaki eyabadde agenda okukyusibwa
Agamba nti okukyusibwa kwe kwabadde kuviiriddeko aba NUP okwewaana nti bebaamukyusizza n'agamba nti okukyusaamu kuno kwongera okukakasa nti Pulezidenti Yoweri Museveni yekka yalina obuyinza obukyusa ba RCC ne ba RDC, sso si omuntu omulala yenna.
Washaki yabadde asikiziddwa Ahmed Kateregga Musaazi, RDC we Butambala era eyaliko omumyuka wa RCC atwala Kimananya-Kabonera Division mu kibuga Masaka