Abawagizi ba NRM okuva mu munisipaali y’e Nansana beebugidde ku kisaawe e Nabweru we bakungaanidde okwolekera ku kisaawe e kololo okujjagulizaako pulezidenti museveni oluvannyuma lw’okusunsulwa ku bwapulezidenti bwa Uganda 2026 -2031.
Bano babadde mu bungi era mubaddemu abavubuka n’abakyala abayisizza ebivvulu okwetooloola ekisaawe ky’e Nabweru.
Ssentebe wa Nabweru South Dorothy Nankya abasabye okubeera n’empisa okumalako obulungi obulungi omukolo.
Ye RDC wa munisipaali y’e Nansana, Charles Lwanga nga yasimbudde ekibinja ekivudde e Nansana ategeezezza nga Nansana bwe yeetegese okuyiira pulezidenti museveni n’asiima abavubuka olw’okulaba ekitangaala ekiri mu NRM.
Aba Sacco z’emyooga nga bakulembeddwa Niyonsenga Yosia, ssentebe wa Nabweru diviizoni Market vendors emyooga sacco bategeezezza nga bwe kibakakatako nga bannamyooga okusanyukira ku Museveni olw’ebirungi by’abakoledde mu bwegassi naddala mu kwekulaakulanya era nga bangi basobodde okuva mu bwavu.
Wano abavubuka bayisizza ebivvulu n’obubadi nga boolekera ku kisaawe e Kololo.