Abantu abasoba mu 150 e Makindye beebaganyuddwa mu nkola ya State House eya youth Wealth creation

Ab’e Makindye baganyuddwa mu pulogulamu ya State house eya Youth Wealth creation ey’okuyamba abali mu mirimu gya wansi.

Omukyala nga musanyufu oluvannyuma lw'okufuna ekidomola kya butto n'obummonde
By Patrick Kibirango
Journalists @New Vision

Ab’e Makindye baganyuddwa mu pulogulamu ya State house eya Youth Wealth creation ey’okuyamba abali mu mirimu gya wansi.
PULOGULAMU, ya State house eya Youth Wealth creation ey’okukwasizaako abantu abakola emirimu gya wansi eyimiriziddwaamu akaseera okutuusa ng’okulonda kwa bonna okwa 2026 kuwedde.

Abamu ku bantu nga balaga byebafunye

Abamu ku bantu nga balaga byebafunye


Bino byogeddwa omukwanaganya wa pulogulamu eno era omukungu okuva mu maka gw’obwa pulezidenti Faisal Nsase.
Abadde ku Kalenda e Makindye ng’akwasa ekibinja ky’abantu abakola emirimu gya wansi okuva mu bitundu by’e Makindye ebintu ebyenjawulo bye bakozesa mu mirimu gyabwe.
Abantu 150, okubadde abasiika chapati, abasiika chipusi, ab’emberenge, abasuluuni n’abatunzi bye byalaani bakwasiddwa ebintu okubadde obummonde engano, butto, ebyalaani, obuuma bw’emberege n’ebyuuma bya dulaya za saluuni.
Ndase ategeezezza nti wadde pulogulamu eno tebatunuulira kibiina kya byabufuzi muntu mwava okumuyamba kyokka olw’okussa ekitiibwa mu mateeka agafuga eby’okulonda olw’okuba nga pulogulamu ewagirwa Pulezidenti Museveni ate nga yoomu ku ba kandidenti abaasunsuddwa okuvuganya mu kalulu ka 2026 basazeewo esooke eyimirizibwe okutuuka ng’okulonda kuwedde.

Abantu nga balaga ebintu byebafunye

Abantu nga balaga ebintu byebafunye


Ndase asibiridde abafunye ebintu entanda okubikozesa obulungi kyokka nabawabula nti ekiseera ky’okulonda kuno basaanye okutunuulira ennyo okulaba nga balonda abakulembeze abali ku mulamwa gw’okusitula embeera za bantu naddala abawansi ate gwe mulamwa gwa pulezidenti omukulu.
Mashindano Amur Yusuf, ssentebe wa NRM e Makindye II, asiimye avunaanyizibwa ku maka g’obwa pulezidenti Jane Barekye olw’okukiraba nga kyali kyamakulu okuwagira ekirowoozo kya Youth Wealth creation.
Mu mbeera yakuwa naawe gwowa ono asibiridde abantu abafunye ebintu entanda nti balonde pulezidenti Musevini ne mu kulonda okuddako asobole okutandiikira wakomye bafune ne binen ebisinga.