Kkooti eyawudde abafumbo omukazi n’emuwaako kateni
Apr 30, 2024
OMUKAZI eyatutte bba mu kkooti ng’ayagala ebagattulule bagabanire wakati emmaali muli ettaka n’amayumba mu Kampala, e Ntebe, Wakiso, Mpigi ne Ntungamo, kyokkakkooti emuwadde kateni za mu nju zokka adde ewaabwe!

NewVision Reporter
@NewVision
OMUKAZI eyatutte bba mu kkooti ng’ayagala ebagattulule bagabanire wakati emmaali muli ettaka n’amayumba mu Kampala, e Ntebe, Wakiso, Mpigi ne Ntungamo, kyokka
kkooti emuwadde kateni za mu nju zokka adde ewaabwe!
Peace Uhirirwe, ye yatwala bba Paul Kagwa Kuuku eyaliko kaminsona mu minisitule y’ebyobulamu mu kkooti ng’agisaba ebagattulule, kubanga Kaggwa yali abaligidde
mu bufumbo, nga tebakyasobola kubeera bombi, era n’asaba ebyobugagga byabwe byawuzibwemu wakati, baawukane bulungi.
Wabula kkooti bwe yawulirizza enjuyi zombi, yasazeewo Uhirirwe agabane kateni z’omu nnyumba zokka, bamuweeyo n’ente emu yokka, ku lukunkumuli lw’ente eziri mu ffaamu ya Kaggwa esangibwa e Ntungamo! Ebyobugagga Uhirirwe bye yateeka mu mpaaba ye, kuliko ennyumba eri e Lubowa ku Plot 1053, block 410 nga wano we wali amaka , Plot no 87, Bukoto Street, Kampala; Plot 63 Nakiwogo Road, Entebbe, ne Plot 3, Ssese walk, Entebbe, kwossa Block 415 – 416, Plot 32, Bugiri Kisubi, mu disitulikiti y’e Mpigi, ne ffaamu y’ente esangibwa mu disitulikiti y’e Ntungamo.
Ebyobugagga bino byonna, omulamuzi Alice Khaukha Komuhangi, owa kkooti ya Famire, mu nsala ye yalagidde Uhirirwe bamuweemu kateni z’omu nnyumba zokka, nga omulamuzi bwe yabazeemu, zaabadde zibalirirwamu obukadde 2 n’emitwalo 80 (2,800,000/-), era alagira Kaggwa azisasule mu bbanga lya nnaku 30 zokka okuva nga April 14, ensala eno we yagiweeredde. Omulamuzi agamba nti ku byobugagga Uhirirwe by’abadde ayagala okugabana, teyateekako wadde omunwe gw’ennusu nga , kubanga yasanga Kaggwa yabikola dda.
EMPAABA YA UHIRIRWE
Uhirirwe mu mpaaba ye, agamba nti yafumbirwa Kaggwa mu bufumbo obutukuvu nga December 16, 2005, ku Klezia ya Our Lady Queen of Virgins mu Parish y’e Kisubi. Ebyobugagga bye yabadde ayagala bagabane, agamba nti yabisanga Kaggwa yabikola dda, kyokka n’amumatiza nti engeri gye bagattiddwa mu bufumbo obutukuvu, n’ebyobugagga bifuuse byabwe babiri, era ye Uhirirwe abibala nga byabwe bombi.
Ku nnyumba y’e Lubowa awali amaka, Uhirirwe agamba nti yagasanga tegannaggwa, era n’akwatagana n’omwami we Kaggwa ne bagimaliriza, era ne batandika okugibeeramu okuva mu July wa 2006, okutuuka mu November wa 2013, bwe yasalawo okwamuka amaka gano, olw’omwami we Kaggwa ku mukazi omulala Diana Natukunda. Wabula kkooti mu nsala yaayo, egamba nti ebyobugagga bino Uhirirwe tabirinaako kakwate kubanga ebimu yasanga Kaggwa yabigula dda, ate bye yakola
nga bali wamu era ye yabyekolera, okuggyako ssente 2,800,000/- ezaagula kateni, omulamuzi ze yalagidde Kaggwa okuzisasula Uhirirwe.
Ku by’okubaliga mu bufumbo n’omukazi Diana Natukunda, kkooti egamba nti Uhirirwe teyaleeta bukakafu nti Kaggwa yabaliga ku Natukunda, wabula n’ezuula nga mu kiseera we baabeerera bombi mu bufumbo, ate Kaggwa yabaliga ku mukazi Doreen Arinaitwe, era n’amuzaalamu n’omwana, nga kino bukakafobumala okusazaamu obufumbobuno. Uhirirwe era mu mpaaba yeyabadde ayagala kkooti emuwe ente 10 okuva ku ffaamu ya Kaggwa eri e Ntungamo kubanga ye yaziteekayo.
Kyokka Kaggwa mu kwewozaako ye amanyi ente emu yokka ate nga nayo baagibawa ng’ekirabo ku mbaga yaabwe, era mwetegefum okugirekera Uhirirwe. Omulamuzi ku nsonga eno yakkiriziganyizza ne Kaggwa, kubanga Uhirirwe teyaleeta bukakafu nti ku ffaamu yateekayo ente 10, ate era tewali bukakafu nti ente gye baabawa ku mbaga yazaala, kwe kulagira Kaggwa amuwe ente ye emu adde ewaabwe.
Uhirirwe era yabadde ayagala Kaggwa asigale ng’amulabirira, kubanga baali bafumbo, naye kino kkooti yakigaanye ng’egamba nti Uhirirwe alina omulimu mu UNICEF era asobola okwerabirira
No Comment