Ebintu 4 by'obadde tomanyi ku nagagga Donald Trump
Nov 06, 2024
Akalulu ka America: Donald Trump y'ani?
By Wilson Williams Ssemmanda
Journalist @New Vision
WASHINGTON DC, America
EYALIKO Pulezidenti wa America owa 45, naggagga Donald J. Trump 78, munnakibiina kya ba Republicans era yazaalibwa mu kibuga Queens, mu ssaza ly'e New York mu America.
Donald Trump bw'afaanana.
Ebyakafulumizibwa biraga nti Trump awangudde Obwapulezidenti era kimufudde Pulezidenti owookubiri okuwangula ekisanja eky’okubiri ekitali kya muddiring'anwa.
- Trump okwesimbawo mu kalulu kano yakitongoza mu November wa 2022 nga n'okutuusa kati takkirizanga nti yawangulwa mu kalulu ka 2020, mwe yawangulwa Joe Biden ng'agamba nti yabbibwa mu kalulu.
- Trump yaggyibwako obwesige mu Palamenti ya America enkulu n'okuvumirira okwekalakaasa kwe bamuteekako nti ye yalagira abawagizi be balumbe ekizimbe kya Capito Buliding nga January 6, 2021, oluvannyuma lw'okumuwangula.
- Mu May wa 2024, Trump yasingisibwa omusango ogw'okugulirira malaaya gwe yali akozesezza nti aleme kwanika byama bye, ate ng'ayavunaanibwa n'emisango emirala esatu omuli ogw'okugezaako okugaana ebyava mu kalulu ka 2020, n'ebigambibwa nti yakwata bubi ebimu ku biwandiiko bya America ebikulu.
Kamala Haris gw'abadde asinga okubbinkana naye.
- Naggagga ono yasomera mu University of Pennsylvania gye baamutikkira ddiguli mu byenfuna (bachelor’s degree in economics). Nga tanneesimbawo kuwangula kisanja kye ekyasooka mu 2016, yali mugagga akola bizinensi ez'enjawulo omuli okuzimba amayumba aga real estate, alina bizinensi ez'enjawulo ng'akola ne ku ttivvi.
Trump agamba nti bw'awangula agenda kuggyawo bingi ku byatandikibwa Gavumenti eyamuwangula mu kalulu, okubonereza balabe be ababadde bamutigomya mu Gavumenti okuli ne Biden yennyini.
Ono era azze agamba nti w'akwatira enkasi waakukola enkyukakyuka ssinziggu mu nkolagana ya America n'omukago gwa NATO okulaba ng'olutalo lwa Ukraine ne Russia luggwa mu Mirembe.
Yalabudde nti w'atuukira abakambwe ba Hamas baakumalibwawo n'okukkakkanya Iran gy'agamba nti emirundi mingi eyise w'erina okukoma. Trump yasuubizza n'okufuumuula abagwira abawera abafulumye America nga n'amawanga agamu ajja kugassaako ekkoligo ng'abaayo tebayingira America.
No Comment