Amawulire

Omuyizi wa P2 eyali yabuzibwawo basanze yafiira mu kidiba ky'omugagga omu ku kyalo

ENTIISA ebuutikidde abatuuze b’e Kaganda mu ggombolola y’e Kkingo mu disitulikiti y’e Lwengo bwe bagudde ku mulambo gw’omwana nga yavundira mu kidiba kya ekimanyiddwa nga swimming pool ekyazimbibwa mu ggeeti ya maka g’omugagga.

Omuyizi wa P2 eyali yabuzibwawo basanze yafiira mu kidiba ky'omugagga omu ku kyalo
By: Florence Tumupende, Journalist @New Vision

ENTIISA ebuutikidde abatuuze b’e Kaganda mu ggombolola y’e Kkingo mu disitulikiti y’e Lwengo bwe bagudde ku mulambo gw’omwana nga yavundira mu kidiba kya ekimanyiddwa nga swimming pool ekyazimbibwa mu ggeeti ya maka g’omugagga.

Mugerwa Nga Bimusobedde,emabega Ye Ssentebe W'ekyalo Verus Sserwoga.

Mugerwa Nga Bimusobedde,emabega Ye Ssentebe W'ekyalo Verus Sserwoga.

Ssekyanzi Ramathan ow’emyaka 9 ng’abadde asomera ku ssomero lya Kaganda C/U mu kibiina p.2 yasangiddwa ng’omulambo gwe gutengejjera mu swiming pool y’omugagga Hajji Musa Atagenda.

Kigambibwa nti omugenzi yabuzibwawo nga November 5, 2024 bwe yali ava okuzannya ne banne abaamulaba n’omusajja ng’amukutte ku mukono ne balowooza nti amumanyi nga  Jjajja w’omugenzi  Katula Jamadah bw’annyonnyola.

Ono yasabye wabeewo obwenkanya ku nfa y’omwana waabwe yadde nga takyazzikawo. Abatuuze bakira ebigenda maaso babirabira wabweru nga ne ggeeti eteekeddwako ekkufulu oluvannyuma lwa poliisi okutuuka mu kifo kino n’ebagobawo ne bajicoomera enoonye omugagga yonna gye yeekukumye abitebye.

Maama W'omugenzi Hasifa Namutebi.

Maama W'omugenzi Hasifa Namutebi.

Ssentebe w’ekyalo kino, Sserwoga Verus asabye poliisi ekole okunoonyereza ku kiki ekyavuddeko omwana okufa kiyambeko emitima gya bazadde okudda mu nteeko.

Maama w’omugenzi Namutebi Hasifa atankana okufa kw’omwana we nga yeebuuza engeri gye yayingira ekikomera kino ekibeera ekiggale ate n’engoye ze okusangibwa nga teziiriwo ku kidiba  kino waakiri balowooze  nti yali agenze kuwuga wano n’asaba obwenkanya ku nfa y’omwana waabwe.

Ye akulira essomero omugenzi gy’abaadde asomera, Damalie Nalutaaya, ategeezezza nti baamusindika awaka era abasomesa ne bamusazisa ekkubo nga mulamu.

Kojja w’omugagga asula mu maka ga mutabani we awaasangiddwa omulambo, Umar  Mugerwa, yategeezezza nti yalagidde katabani ke keere mu luggya okwetooloola n’ekidiba kino kyokka nti yabadde ali awo ne kajja okumuyita nga kamutegeeza nga mu kidiba bwe mwafiiramu omuntu.

Omugenzi Ramathan Ssekyanzi.

Omugenzi Ramathan Ssekyanzi.

Mugerwa yagambye nti naye tamanyi butya omugenzi bwe yayingira ekikomera kuba tewali wa waka yamuggulira.

Omwogezi wa poliisi mu Greater Masaka Twaha Kasirye akakasizza okufa kw’omwana ono era n’ategeeza nga bweb atandise okunoonyereza ku kiki ekyavuddeko omwana ono okufa. Kasirye alabudde abazadde okuba abeegendereza eri abaana baabwe okwewala bannakigwanyizi abanoonya ebyabwe mu ngeri y’okubasaddaaka n’okuggyako abazadde ssente.

Oluvannyuma omulambo poliisi eguggyeewo ne gutwalibwa mu ddwaliro e Masaka okwongera okwekebejjebwa.

Tags:
Mwana
p2
Umar Mugerwa
Mugagga Hajji Musa Mutagenda
Kikomera
Lwengo
Kingo
Kaganda