Omukulu w'ekika ky'Emmamba alwalidde ennaku bbiri zokka; "afudde kasikonda"

Nov 18, 2024

AB’EKIKA ky’Emmamba bali mu kiyongobero olw’okufa okw’ekibwatukira okw’Omutaka Gabunga Mubiru Zziikwa 58.

Bukedde Omusunsuzi
Omusunsuzi @NewVision

AB’EKIKA ky’Emmamba bali mu kiyongobero olw’okufa okw’ekibwatukira okw’Omutaka Gabunga Mubiru Zziikwa 58.

Omutaka Mubiru Gabunga Zziikwa yafiiridde mu ddwaaliro e Lubaga oluvannyuma lwa kasikonda okumusikira ennaku bbiri!

Omutaka Gabunga Bw'abadde Afaanana.

Omutaka Gabunga Bw'abadde Afaanana.

Katikkiro w’Ekika ky’Emmamba, Kyobe Kaberenge eggulo yategeezezza abakungubazi abaakung'aanidde mu maka g’Omutaka e Kabowa nti, omugenzi alwalidde ennaku bbiri zokka.

“Ku Lwokuna Jjajja yankubira essimu ng’antegeeza bw’ataasuze bulungi. Nnakeera wuwe erane mmutwala mu ddwaaliro e Lubaga. Omusawo yamutegeeza bw’alumbiddwa yinfekisoni,” Katikkiro Kaberenge bwe yannyonnyodde.

Yagasseeko nti, abasawo baamuwa obujjanjabi n’adda awaka e Kabowa, kyokka ku Lwomukaaga jjajja mukyala yamukubira essimu nti, omulwadde amwetaaga n’asitukiramu n’amutuukako kyokka yamusanga kasikonda amusika okufa obufi.

“Namuzzizza mu ddwaaliro e Lubaga ne bamukolako ne batusiibula, mu madda twanyumizza bulungi n’ansaba nnyimirireko ku luguudo Gabunga olukolebwa mu Kabowa,” Kaberenge bwe yategeezezza.

Wabula ku ssaawa 4 ez’ekiro ku Lwomukaaga, Jjajja mukyala yankubidde essimu ng’amaziga gamuyitamu nti, omulwadde embeera etabuse, kwe kusitukiramu ne mmussa mu mmotoka okumuzzaayo e Lubaga.

Abasawo baatandise okumukolako, wabula mu ddakiika nga 30 abasawo baakomyewo nga bawotookeredde ne bakanteka nti, Jjajja yabadde afudde!

Bukedde yatuuse mu maka g’omugenzi e Kabowa ku Ssande ng’abakungu bangi bakung'aanye.

Ow'essiga Bukulu bwa Wadda, era nga ye muwandiisi w’Ekika Andrew Benon Kibuuka yagambye nti, bakyalindirira okulambikibwa okunaava e Mmengo olwo bategeke eby’entereka (okuziika) y’omubuze (omugenzi) ku butaka e Ssagala Buwaya mu Busiro.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});