Mmengo esazeewo eggoye ku ssiga lya Mugula e Ntebe
Sep 06, 2022
MMENGO evuddeyo n’erambika ku Ssiga lya Mugula e Ntebe mu Busiro nti lino mu nnono lya kika ky’Emmamba Namakaka erikulemberwa Omutaka Gabunga Mubiru Zziikwa.

Bukedde Omusunsuzi
Omusunsuzi @NewVision
Bya Dickson Kulumba
MMENGO evuddeyo n’erambika ku Ssiga lya Mugula e Ntebe mu Busiro nti lino mu nnono lya kika ky’Emmamba Namakaka erikulemberwa Omutaka Gabunga Mubiru Zziikwa.
Minisita w’obuwangwa mu Buganda, David Kyewalabye Male ye yayanjudde alipoota ku Lwokubiri September 6, 2022 e Bulange - Mmengo n’agamba kikyamu ab’ekika ky’Emmamba Nankere okukaayanira essiga lya Mugula ng’ate mu buwandiike bwe baawereeza nga basaba batongozebwe ng’ekika temwalimu kiraga nti balina Essiga lya Mugula.
“..nga tutambulira ku biwandiiko ebikulu ebikwata ku nsonga eno naddala ebyo ebyaweebwayo Abataka ababiri mu kakiiko ka Ssaabataka ab’Ebika n’ebyaweebwayo Omutaka Nankere ng’asaba okutongozebwa, Essiga lya Mugula E Ntebe ligwa mu kika ky’Emmamba Namakaka ekikulirwa Omutaka Gabunga e Ssagala - Busiro,”Kyewalabye bwe yasomye ekiwandiiko.
Kino kiddiridde Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga okuwandiikira Minisitule y’Obuwangwa nga July 27,2020 ng’agiragira okulondoola ensonga z’Essiga lya Mugula oluvannyuma lw’Omutaka Gabunga okumuwandiikira nga yeemulugunya ku Omutaka Moses Kanoonya Nankere okuyingirira Essiga lye erya Mugula e Ntebe.
Minisitule y’ebyobuwangwa yategeka ensisinkano ssatu ku nsonga eno era buli luuyi ne luleeta bwiino waalwo naye ekimu ku bikulu ebyazuuliddwa kwe kuba nti Abasiige abava mu ssiga lino, bajjuliza nti bava wa Gabunga.
Omu ku basiige abava mu ssiga lino ye Omutaka Ssemanobe ng’ono y’avunaanyizibwa ku kukuuma ekifo ky’e Naggalabi awatikkiririrwa Kabaka ng’era ono alina emikolo gy'akola ku Mulangira agenda okulya Obuganda.
Kyewalabye yategezezza ng’obuvunanayizibwa n’obuyinza obutongoza ebika n’amasiga bwe buli ewa Kabaka ng’enkola Nankere mweyayita okutongozebwa ng’ekika mu 2005.
“Ab’Emmamba Kakoboza bwe baba balina obujulizi obwenkukunala obukakasa nti Essiga eryo ligwa mu kika kyabwe,balina okwekubira enduulu mu kkooti y’Ebika bagisabe etunule mu bujulizi obwo era esalewo ekyenkomeredde nga bwekyali nga basaba okutongozebwa okufuuka ekika ekyetuukira obutereevu embuga,”Kyewalabye bwe yawabudde.
No Comment