Ttabamiruka w’Abakyala mu Buganda;Nnaabagereka abasabye okuwagira bannaabwePolof.

May 20, 2025

NNAABAGEREKA Sylivia Nag-ginda asabye abakyala okwewa-gira mu bye bakola okusobola okwekulaakulanya.

Bukedde Omusunsuzi
Omusunsuzi @NewVision

NNAABAGEREKA Sylivia Nag-ginda asabye abakyala okwewa-gira mu bye bakola okusobola okwekulaakulanya.

Yagambye nti abakyala abamu tebafuddeeyo kuwagira ban-naabwe ne badda mu ntalo z’okwerwanyisa. “Abakyala tulina okuwagira bakyala bannaffe mu byonna bye bakola.

Oli bw’abaako ne by’akoze, mumuwagire ate temuwugula bakasitoma be nti temugenda eyo n’ebirala ebir-inga ebyo,” Nnaabagereka bwe yagambye.

Yabadde mu Ttabam-iruka w’abakyala ba Buganda ow’omulundi ogwomwenda mu Lubiri e Mmengo, nga yat-egekeddwa wansi w’omulamwa ogugamba nti, ‘Twongere okuwagira emirimu gy’abakyala ku lw’enkulaakulana eyannamad-dala’.

Nnaabagereka ye yamuggud-dewo era n’akwasibwa n’ekikopo ky’omupiira gw’abakyala, ate omumyuka asooka owa Katik-kiro, Polof. Twaha Kaawaase ye yamuggaddewo n’asaba abakyala okwenyigira mu nsonga z’obukulembeze okuli okuvug-anya ku bifo by’obufuzi ng’erimu ku makubo g’okwongera okul-wanirira ensonga zaabwe.Polof. Kaawaase yagambye nti gavumenti ya Kabaka egenda kwongera amaanyi mu kutum-bula abakyala kuba enkola y’okuleka abakyala emabega yadiba dda, buli kimu bakyeny-igiramu.

Yasabye wakolebwewo alipoota ekwata ku Ttabamiruka nga bw’azze atambuzibwa n’ebiteeso ebizze biyisibwa, mufunibwemu ebikulu ebiyinza okuteekebwa mu nkola.Baayisizza ebiteeso musanvu (7) okwabadde okukozesa n’okutumbula tekinologiya mu mirimu gy’abakyala, okuku-biriza abakyala ku nneeyisa ennung’amu mu bantu n’ennyambala ennungi, abakyala okuwandiika obwannannyini ku ttaka n’eby’obugagga ebirala okugiteeka mu mateeka, okukoz-esa enkola ennyangu okufunamu amazzi okuli okugalembeka n’endala.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});