Ababaka ba NRM mu Buganda bategese omukolo e Kasambye mu kaweefube w'okuzza obuwagizi bw'ekibiina
May 31, 2025
OMUKOLO gwa "Museveni ku Buganda", ogwategekeddwa Omubaka wa Kasambya David Kabanda, ku kisaawe kya Kasambya DAS Primary School, gusombodde abantu okuva e buule n'ebweeya.

Bukedde Omusunsuzi
Omusunsuzi @NewVision
OMUKOLO gwa "Museveni ku Buganda", ogwategekeddwa Omubaka wa Kasambya David Kabanda, ku kisaawe kya Kasambya DAS Primary School, gusombodde abantu okuva e buule n'ebweeya.
Abamu Ku Babaka Abaabaddeyo Ku Mukolo
Gwetabiddwako baminista n'ababaka ba palamenti aba NRM okuva mu Buganda okubadde Minista wa Micro finance Haruna Kyeyune Kasolo, minista omubeezi ow'eby'obulamu Hanifa Kawooya.'
Chameleon Ng'ayimbira Abantu Abazze Ku Mukolo.
Mu balala mulimu, Omubaka Micheal Mawanda owa Igara East, Omubaka omukyala owa Nakaseke Sarah Najjuma, Omubaka omukyala owa Gomba, Omubaka omukyala owa Mubende Hope Grania Nakazibwe, n'abakulembeze ba NRM e Mubende.
Minisita Aniifa Kawooya Ne Hope Grania Nakazibwe Omubaka Omukyala Owa Mubende
Mu kaweefube w'okuzza obuwagizi bwa NRM mu Buganda, ababaka b'akabondo ka NRM okuva mu Buganda baasalawo okutongoza "Museveni ku Buganda" era batalaaze ebitundu bya Buganda eby'enjawulo okuli Lwengo, kati bali Kasambya. Balaga ebikoleddwa ekibiina kya NRM n'ebyo bye basuubira okukola.
Omubaka Wa Kasambya County David Kabanda Ng'atuuka Ku Mukolo Gwa Nrm Ku Buganda Ku Kisaawe E Kasambya.
No Comment